Obumyu bufuna nnyo, Akamyu akakazi kasobola okuzaala obwana assattu mu mwaka gumu . Ennyama y‘akamyu ewoma , erimu ekiriisa ekizimba omubiri n‘ekigejesa kitono . Abalunzi b‘obumyu babulunda kubanga butwala ekifo kitono n‘obudde ekiviirako okufuna sente ennyingi ate mu bwangu.
Woba oyagala obumyu okukula obulungi n‘okuwera mu bwangu, kikulu nnyo okubuliisa obulungi. Okuliisa obumyu mu kayumba osobola okozesa: ebimmera nga ,kafumbe , olukindukindu n‘ebikoola by‘ebinnyebwa ebyakakungulwa.Emmere y‘omuttaka ne kaloti bilina okuwebwa obumyu mukipimo ekimala.
Okwewala obulwadde.
Obumyu bulina okuwebwa emmere y‘ebisolo ekaziddwa okusobola okwewala ekirwadde ky‘ekiddukano n‘olubutto okutumbira ekiretebwa obuwuka obuva mu mmere y‘ebisolo embisi.
Ebikoola by‘amapeera ebyakanogebwa n‘enkolimbo biyamba mukuwonnya ekiddukano , Eniimu n‘ebikoola by‘ekirime kya“ Vernonia“ biziyiza ekirwadde kya“coccidiosis“.
Mu biseera eby‘ekyeya , ebikoola by‘ebinnyebwa n‘ebijanjalo ebisigalira oluvannyuma lw‘okukungula , bisobola okukozesabwa nebiterekebwa ewaka mu kifo ekikalu.
Omutawaana oguli mu kusiiyibwa kw‘omubiri.“Scabies“
Obumyu obukonzibye butebelezebwa nnyo okuba n‘obulwadde bunno. Era akamyu akabulina kaba n‘enkwagulo ku mubiri ,ku maggulu, nekumattu era nga kanafu.
Obumyu webuba busiiyibwa omubiri tebulya bulungi, bukula mpola era buba n‘obwana butono. n‘olwekyo , emmere y‘ebisolo erina okutabulwamu emmere ereeta amanyi , era ng‘erimu ebirungoo n‘ekiriisa kya vitamins.
Ebirungo bisobola okolebwa nga tutabula emmere y‘empeke ,cacu y‘engano soya omusiikeko ,emmmere y‘emirandira n‘omunnyo. Ebikoola bya Moringa , biyamba mu kukula ate tebilina butwa.
Omuwendo gw‘ebyokulya
Emmere ya kipimo kya 250g to 300g yerina okuwebwa akamyu akakazi akalina obwana , 120g ewebwa akalina olubutto ne 100g ewebwa akamyu akasajja akawakisa ne 20g ku 100g ewebwa obummyu obuttono okusinzira ku myaka gyabwo.
Olina okuba n‘ekiseera ekigere eky‘okulisizaamu obumyu buli lunnaku okusobola okwewala ekabiriro mu bisolo. Obumyu bulina okuba n‘amazzi agatukula buli kadde.
Ebirirwamu bilina okuba nga bizitowa era nga bisibiddwa ku kiyumba okusobola okuziyiza obumyu okulinyamu . Obutuli bulina okubirwa mu birirwamu olwo obumyu obutto busobole okuliira mu butuli bwa wansi ate akamyu akakazi kaliire mu butuli obwawaggulu okusobola okwewala okwonona.