Okukuuma eggana ly‘enjuki kigenderewa kulemesa njuki kusenguka.
Enjuki okusenguka kibawo nga omuzinga gujjudde nnyo, waliwo okwenyigiriza mu muzinga era nga tewali kawowo ka nabakyala kamala okwetolola omuzinga. Enjuki zanuka na kukuza ba nabakyala abalala era nezisenguka nga zinatera okwaluza nabakyala omupya. Nga omulunzi w‘enjuki, obeera mubutufu toyagala njuki zo kusenguka kubanga kino kikendeeza byogyamu.
Okwekebejja omuzinga
Bwoba wekebejja omuzinga, kebera oba enjuki zirina nabakyala omulala gwezikuza omutali mu bisenge bya nabakyala alimu era bwekiba kituufu, ebiyumba bya banakyala abo bigyemu obinyige. Okwawula ebisu bya nabakyala, nebiyumba omuzimbirwa banabakyala, ebisu bya nabakyala bibeera bikalu kyoka nga ebiyumba omuzibirwa nabakyala mubamu eggi , ekivunyu oba ekiwuka.
Okuziyiza okusenguka
Bwoba olambula emizinga, girambe nga okozesa ebirimba by‘enjuki buli gumu byegulina. Kino kikuyamba okumanya muzinga kki gwolina okudayo okwekebejja okulaba enjuki ezisenguka era gulina okwetaaga okwanguyirwa.
Engeri emu eyokuziyiza okusenguka kwekugaziya ekifo ky‘enjuki. Kino kikolebwa nga oyongeramu amaddinda. Okubeera ne nabakyala omuto nakyo kiyambako enjuki obutasenguka.
Waliwo ebika by‘enjuki ebimu nga tebitera kusenguka. Kiwabulibwa okulunda enjuki ekika bwekityo.