okulabirira kasooli obutalumbibwa butwa obuva ku bukuku obuyitibwa inflatoxins nga tonakungulu ne mu biseera by’okukungula.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/managing-aflatoxins-maize-and-during-harvest

Ebbanga: 

00:14:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agro-Insight
Mu kukuuma ettaka lyo nga ggimu n'okusimba amangu, ebimera byo bigya kugguma n'obutalumbibwa biwuka n'obukuku. Kasooli nga akaze, mukungulire mu wiiki bbiri. Kasooli omulamu muggye ku ttaka, kubanga kino kimuleetera okufuna obukuku n'okwonooneka ng'omuterese. Yokya kasooli yenna ayononese. Tomuwa nsolo zo kumulya.

Endowooza ez’enjawulo ku ngeri y’okukuumamu kasooli okuva eri obutwa obuva ku bukuku obwa inflatoxins ziyamba abalimi nga tebanakungulu ne mu biseera by’okukungula.

 Obutwa obuva ku bukuku obwa inflatoxins bwabulabe nnyo eri abantu n’ebisolo. Singa ensolo zo oziwa emmere erimu obutwa buno, zijja kuwa amata n’ebivamu nga bitono, amagi n’ennyama bisobola okutambuza obutwa buno mu bantu. Bwoba oliridde obutwa buno obuva ku kukula ebbanga, bwonoona ekibumba n’ensigo.
Obukuku obuvaako obutwa obwa aflatoxins.
Obukuku obubeera mu ttaka era n’okufuna eky’okulya okuva ku kimera busobola okumera obutwa obuyitibwa inflatoxins. Empewo esaasaanya emitunsi gy’obukuku, n’egigenda ku wuzi za kasooli. Oluvanyuma, bukula ku kasooli ekivirako obutwa bwa aflatoxins okumera. 
 Kasooli asinga okukwatibwa nnyo buno obutwa bwa inflatoxins naddala mu budde bw’ebbugumu. Kasooli omuto atawanyizibwa nnyo ekyeya.
Okukuuma kasooli okuva eri obukuku
Kikulu nnyo okutandika okusimba amangu ddala, okuziyiza ebimera byo okufa ekyeya. Bwosimba kasooli wo, simba ebintu ebirala nga enkoolimbo okumulinaana.
Ekigimusa kikulu nnyo okukuuma obunyogovu mu ttaka. Okusala ebisigalira era busobola okusigala mu nnimiro, kisobozese ebikunguddwa okubutayononeka nnyo. Nolwekyo, ebimera bikula biggumu n’ebitalumbibwa bukuku. Ettaka lyo bweritaba ssetevu , sima ebikata okukuuma obunyogovu.
Amangu ddala nga kasooli akuze tandiika okumukungula. Kola kino mu kasana, kubanga obukuku buyinza okujja ku kasooli omubisi. Oluvannyuma lw’okuggyako ebikuta bya kasooli, olina okutereka kasooli mu kutiya, okumuziyiza okugendako ettaka. Ggyamu era oyokye buli kasooli alumbiddwa.  
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:05Singa kasooli aba tasimbiddwa n'akukungulwa bulungi, obukuku bumumerako.
01:0602:46obutwa bwa aflatoxins bwa bulabe eri obulamu bw'abantu n'ebisolo
02:4703:19Obutwa bwa inflatoxins buva ku bukuku
03:2005:28Obubaka ku ngeri obukuku gye busaasaana
05:2907:04Obubaka ku ngeri gy'oyinza okukuumira obunyogovu mu ttaka n'ebirala by'oyinza okusimba mu nnimiro ya kasooli
07:0507:56Kasooli yetaaga amazzi okukula, naye era alina okukala ennyo.
07:5708:59Kungula kasooli amangu ddala nga akuze
09:0010:10Lambula ennimiro ya kasooli buli luvanyuma lwa wiiki bbiri
10:1110:26Bwogyako ekikuta ku kasooli kebera obukuku oba kasooli afuusiza langi. Afuusiza langi aba atangaala nnyo kwoyo omulamu.
10:2711:47Kasooli aggyiddwako ebikuta talina kugendako ttaka.
11:4813:33Mu bufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *