Endabirira y’emmerusizo y’emitti gy’ebinazi ennungi eyamba ku nkula y’ebirime ennungi era ereeta ensimbi nyingi eri omulimi.
Okusobola okufuna amakungula agawera,kakkasa nti osimba emitti egiri ku mutindo era nga mirungi,n’ensigo gy’emitti gy’ebinazi ezitukula.Era kakasa nti oyawula ebisigalira eby’obutonder kwebyo ebitali bya butonde mu nnimro y’emitti gy’ebinazi era okakkase nti ofuuyira eddagala eritta omuddo wansi mu makati g’akaveera akasibiddwa ku kirime okusobola okwanguya enkula y’endokwa.Okwongerako,endokwa zikwate n’obwegendereza mu kiseera ky’okusimbuliza okusobola okwewala okufiirizibwa.
Ebikolwa ebituufu
Fukirira emitti gy’ebinazi buli lunnaku ng’okozesa akuuma akafuuyira akalina awafuuyira nga wali wansinsi ng’oteekateeka emmerusizo esooka.N’akafuuyira akayina omumwa gwa waggulu ku mmerusizo enkulu okusobola okwewala ebirime byo okukala olw’ebbula ly’amazzi mu byo.
Era kuuma obwangu bw’enkuba y’amazzi ng’okozesa ebipimo era wewala emiwatwa egitambuza amazzi okusobola okuziyiza okwonoona ebirime.Mu kwongerako,Kebera empiira z’amazzi buli kasera era ozubule empiira ezizibikidde okusobola okusobozesa amazzi okulukuta eri ebirime ,n’ensigo z’emitti.
Mu kugattako,funa abantu abatendekeddwa obulungi mu ku kozesa ebigimusa nga bakozesa emikebe egirina ebipimo era wewale okugatta nsigo n’ebigimusa.Oluvannyuma bikka ettaka ng’okozesa ebisigalira mu kukola butto okuva mu binazi ku buwanvu bwa kipimo kya 2.5cm okwetooloora ekirime okusobola okukendeza ku kufiirwa kw’obuweweevu,okukendeeza ku muddo ogwonoona ebirime,okutambuza ebirungo,n’okwewala okulukuta kw’ettaka.Mukwongerako,Kakkasa nti oziyiza omuddo n’ebisigalira okusobola okwongera ku nkula y’endokwa ga w’ozirambulirira n’okwewala ebitonde ebyonoona ebirime.
Olumaliriza simbuliza ,ogyemu emitti egirabika obubi era olambulire enkula y’emitti okuva mu mwezzi ogw’okuna ng’omazze okusimba ensigo.Kakkasa nti okozesa enkola y’okukebera ebirime nga tobiva kkumu okusobola okwekkaanya enkula yaabyo.Era ku myezzi 6 ku 7 ng’omazze okusiimbuliza emitti egikula obubi .
Mukusembayo,oluvannyuma lw’emyezi munaana salako emirandira egimu mu bukutiya okusobola okwewala ekirime okwonooneka era okakkase nti endokwa ozifuuyira bulungi nga tonazisimbuliza okusobola okwewala ekirime okuffa n’okulemesa ebimuli okumera,