Olw‘okuba emmere eno erimu ekiriisa,muwogo akyusibwa nakolebwamu ebintu eby‘enjawulo nga kwotadde obukundugulu n‘ebikuta okusobola okwongereza ku mmere y‘ebisolo.
Ebikuta bisobola okuliisa ensolo bwebiba bikaziddwa bulungi wansi okumala ennaku 2 ku 3 n‘ebifuuka byatunzi.
Bwebiba bikaziddwa bubi bizza amagoba matono olw‘obutwa okweyongera n‘ekivirako omutindo obutatukirira ogw‘okutundirako.
Ebikuta eby‘okusa birina okuba nga tebyonoonese okutangira ekyuma obutayonooneka nga babissa.
Okusa ebikuta.
Kozesa ebikuta ebipya kuba ebikuta ebikkaatuuse biseereera, biwewera,n‘ebigonda n‘ekibeera kizibu kyakubikuba.
Ebikuta bikubibwa emirundi essatu okusobola okufuna obukuta obutono obwoyagalwa.
Obukuta obukubiddwa buppakirwa mu bikutiya mu bipimo ebiri wakati wa kiro 8 ku 12 era bifunyibwako oluvanyuma n‘ebiteekebwa mu kyuma okugyamu amazzi nga biganyiga.
Ekifo ekigazi kiwa omwaganya okuteekawo jeke olw‘olubaawo olwawula ebikutiya okuva ku jeke n‘ekiretera amaanyi okugabanyizibwa ekyenkanyi.
Ekutiya ezinyigiddwa zivaamu ebitundu 50 ku buli kikumi ebya mazzi era zirekebwa okukkaatuuka n‘ezikola ekimere n‘obungi bwa mazzi obuli wakati w‘ebitundu 38-42 ku buli kikumi.
Ekimere kisekulwa okufuna ensaano.
Okusa kwawula ekimere okuva ku nsaano n‘ekigiretera okubaamu ekirungo ekyongera amaanyi mu mubiri.
Kaza ensaano eno okumala essaawa 68 zokka n‘obungi bwa mazzi bwa bitundu 12 ku buli kikumi era n‘eteekebwa mu kikutiya n‘eterekebwe okumala emyezi 46.
Longoosa ekifo awakoleddwa okusa n‘ebyuma ebikoze okuziyiza obuwuka n‘okukasa nti bisigala ku mutindo.
Ebiva mu bikuta bya muwogo mulimu: dried mash, coarse mash ne wet cassava peel cake.