Ensowera z‘okubibala zibiika/zitereka amaggi gaazo mu bibala era ebibala ne bitandika okuvunda. Kino kireeta okufiirizibwa naddala mu katale k‘ebintu ebitundibwa ebweru w‘eggwanga. Nayi bino byonna biyinza okuntangirwa nga tweyambisa ebitimba ebikoleddwa mu pheromone ne methyl eugenol.
Ebitimba bino bisola okukolebwa nga tweyambisa ebiccupa ebikoleddwa mu bipulasitiika ebitangaala nga tukubamu/tutekamu ebituli waggulu wa buli nsonda ey‘eccupa era ebutuli bitekbwamu okwewala amazzi g‘enkuba okuyingira mu ccupa.
Teeka akaggwa mu kasanikira era okawanike waggulu mu kisiikirize ky‘omuti mu buwanvu bwosobola okulabirira mu bwangu, oluvanyuma oteeke ogutafaali gwa pheromone eri ku ludda olulala olw‘eccupa. Kyusa ogutafaali gwa pheromone buli luvanyuma lwa myezi mukaaga.
Wanika ebitimba kkumi kw‘ana mu buli hekiteeya okuliraaawayiibwa kasasiro era ne kulusalosalo lw‘ennimiro y‘ebibala. Osobola okufuuyira ku lusalosalo lw‘ennimiro omulundi gumu buli wiiki n‘ebimmeremmere ebitabikiddwamu eddagala eritta ebiwuka.
Ebitimba mu biccupa bya ppulasitiika
Ebitiimba bisoka okukolebwa nga tweyambisa obuccuppa mw‘amazzi obwa ppulasittika era bino bikolebwa nga tukeeeka ebituli bibiri ebyenkana sentimenta satu obugazi ku ludda olwa waggulu ku ccupa, ekituli oluvanyuka kiteekebwa /kikubibwa mu kasanikira era ne waya neeyisibwamu mu kaccuppa.
Kola ekiwero kya ppamba okusobola okukwata pheromone nga agattiddwa n‘eddagala eritta ebiwuka, naye weyambise eddagala eritta ebiwuka eritalina lusu. Ebitundu bina ebya pheromone bigattibwa n‘ekitundu kimu eky‘eddagala eritta ebiwuka.
Leka waya ekwatte ku kiwero kya ppamba era owanike ebitimba mu mpattanyo z‘omuti. Osobola okwyambisa ekitimba kimu buli muti okutandika n‘omwezi ogusooka ng‘ekibala kimazze okumulisa okutuuka ku kungula kw‘ebibala.
Olusu luno lukendeera n‘obuude nag bwebweyongerayo mu maaso era lilina okukyusibwa buli luvanyuma lwa mwezi. Singa okulima ebibala kwannakvundira, teweyambisa ddagala litta biwuka, naye weyambise ebitimba eby‘enjawulo ebitakiriza nsowera ez‘okubibala kuvuluma nga zimaze okuyingira.