Nga okusimba ebitooke kwetagisa ensukusa, ensukusa kekatooke akato akasibuka okuva ku kitooke ekikulu.
Abalimi basigula ensukusa okuvira ddala ku kikolo wabula ebitooke ebikulu bibeera nebiwuka (nematodes, fungi ne weevils). Ebikolokolo wansi mu ttaka kireeta emirandira n’olulimi wakati olufuuka enduli.
Okukuza ensukusa
Ekisooka, okuzaaza ensukusa, kyetagisa ekimezesa, enyumba etayitamu musana (green house), ekisikirize wamu n’ensukusa ez’omutindo. Londako ekikolo kyoyagala okuzaazamu, ogyeko akasukusa akali mu 1m nga kalina endagala ensongovu nga efumu naye tosigulako ensukusa eziri ku luuyi okuva embuyaga kubanga ziyambako okuziyiza ekitooke ekikulu okusiguka. Sigulako nobwegenderza ensukusa era osisale paka ku buwanvu bwa 30cm okukwanguyiza enkwata olwo ozeeko okuzilongosa nga zikyali mu nimiro okwewala okusasanya endwadde.
Mu ngeri yemu, susumbulako olukuta lwa 3-5cm okwetolola ekikolokolo paka nga kifuuse kyeru era ogyeko ebigogo ku ntobo olekeko ekywakati kyoka kubanga kiyinza okusibuka nga terinagemebwa. Nyika ekikolo mu ddagala okumala edakiika 10 – 15 ozikalize enaku 2 -3. Weyongere okiteeke awantu awayonjo mu kisikirize nga omusana tegukubawo wadde enkuba.
Nga omaze okugikaza, salako ekigogo ekyawakati okisalemu mu ngeri ya musalaba olwo oteeke ekikolokolo mu sanduko omumerera 50cm okuka nga eterdwa awantu awakumibwa nga bwewewala ettaka okukitukako nga bwokozesa obuyinja entumu ya 10cm okuva wansi mu sanduko. Gatako omutendera gw’evvu okusobola okutta obuwuka mu ttaka era okubemu akatuli awayita amazzi bwoba womereza wa sementi. Jjuza essanduko n’olukuta oluva mu bbajjiro,ogyemu obutititi, oyiwemu amzzi amayonjo, obitabule bulungi, ensukusa ozituzeemu nga zitunudde waggulu era ozibikeko olukuta olwa 3cm era ekisembayo obike esanduke n’ekintu ekisanuuka nga kitangala okukuuma olufu. Gisereke n’ebisansasansa, ofukirire olunaku oluddako ate olwo emirundi ebiri buli wiiki nga bwobibikulako okumala edakiika 5 buli lunaku.
Okwongerako, nga wayise wiiki 3 ku 6, ekikolokolo kigyemu ogyeko buli lulaga lufu wamu namabala amaddugavu. ofukirire obuvera omusimbibwa olwo oseemu obusukusa oluvanyuma busimbulizibwe nga wayise wiiki 6 ku 8.