Ebika by‘ennyaanya ebyenjawulo bisobola okukuzibwa mu biyumba. Kino kikakasa nti ekirime wekiri okuyita mu mwaka ku bbeeyi esoboka.
Enkola eyokukuriza ennyaanya mu biyumba erina emigaso egyenjawulo okugeza; zikosebwa kitono embeera y‘obudde olwo nosobola okubeera nazo buli kadde mu katale, kikendeeza nekunsasaanya engeri hyekyetaaga abakozi abatono ate era nobulwadde bukendeera, obungi bwofuna ku ttaka bwobugerageranya nalimidde mu nimiro eyetadde. Okufukirira nga okozesa obupiira omuyita amazzi obutekebwa mu ttaka yenkola egambibwa kubanga okufukirira okwa bulijjo kuleeta okuvunda ebikoola n‘ebibala okweyasa.
Okweyongera kw‘amakungula
Omutendera ogusooka nga oyagala amakunguala amangi okuva mu biyumba kuba kukoola beedi nga nsitufu 1m mu nda mu kiyumba okwewala okukozimba olwo ensigo nozisimba nga 15cm wakati wa layini ne 2cm wakati webinnya, engeri endala osobola okusimba mu tule obulimu ettaka ly‘ebasigamu.
Beera nga osimba ensigo engeme nga okozesa eddagala eriragibwa okwewala okukwatibwa ebitonde ebizonoona era nokwewala okuwotoka. okwongerako, wekenyene endokwa era ofuyire ebiwuka n‘endwadde ate era okendeeze okufukirira wiiki emu nga ogenda kusimbuliza okusobola okuzimanyiiza embeera zisobole okumeruka amangu nga zimbulizibwa.
Fuyira eddagala ly‘ebiwuka bi nematodes era ofuyire ettaka nga tonasimbuliza okwewala ebiwuka era bwomala osimbulize nga wayise enaku 18021 nga okozesa amabaga ga 60cm *45cm kuba kino kyongeza ku makungula ate era nokwanguyiza okulwanyisa ebiwuka n‘endwadde. Beera nga okyusakyusa byolima osobole okukutula olujjegere lwendwadde nga bwokozesa ebigimusa nga omaze okukebera ettaka era okozese nakavundira okwongera ku birungo mu ttaka.
Simba nga otabika okukendeeza ku mugoteko okusobola okusobozesa empewo okutambula mu nda mu kiyumba. okwongerako, ebirime bifukirire naye okutobya ebikoola okukendeeza endwadde ezibikwata. Lwanyisa omuddo era oziteremu kwezilandira nga omazze okusimbuliza, ozisalire okusobola okuwanvuwa era ofuyire okuziyamba okumulisa. Okwongerako, zekebejje nga okusobola okulaba ekyetagisa nokikolako mangu.
Nekisembayo, ebikolo ebiwanvu obiwete okwanguya okubirabirira era okungule bulungi naye ogulewo awayita empewo ku naku ezokya era ozigalire ku naku ezinyogoga osobole okufulumya oluffu era kungulira mu budde obutuufu, osobola okugatta zokungudde ku bintu ebirala okukendeeza ku sente z‘entabula ate nofunamu amagoba.