»Okukungula n‘okutereka shea nuts«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/harvesting-and-storing-shea-nuts

Ebbanga: 

00:07:41

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2019

Ensibuko / Omuwandiisi: 

NOGAMU, Sulma Foods Uganda
»Mu katambi kano, tugenda kuyiga engeri y‘okukunganyamu ebibala bya shea, okuggyako ebikalappwa, okusunsula n‘okubikaza okusobola okufuna ensigo ezivaamu omuzigo ennungi. Tujja kuyiga engeri y‘okusunsula,okukaza n‘okuzituusa ku mutindo ogwetagisa mu katale.«

Omuzigo gwa shea oguli ku mutindo gufuna kiralu. Naye bw‘okungula n‘okukwata obubi shea nuts zino kivirako okufuna ensigo embi omukolebwa omuzigo guno.

Ebibala bya shea bibikibwa okusobola okugyako ekikalappwa amangu.

Okukaza n‘okutereka.

Kunganya shea nuts ezikuze obulungi ezigudde ku ttaka mu mikebe emiyonjo okusobola okufuna ensigo ennungi omuva omuzigo. Ggako ebikalappwa okuva ku kibala kya shea amangu ddala zireme okukaatuuka. Okwongerezaako kaza shea nuts zino wakati w‘ennaku 3-5 ku mikeeka emiyonjo oba amatundubali; kebeera bulungi oba zikaze ng‘ozinyenya. Bweziba zikaze bulungi, zivaamu eddoboozi erikubagana. Ggako ebikalappwa amangu ddala nga obikuba wabula tosensebbula, wano woggyiramu ensingo okusinzira ku mitendera egy‘enjawulo. Zippakire naye nga tozimaliddeyo zonna okwewala okwokebwa ekiyinza okuleetera ensingo zino okwekwata. Ekisembayo toteereka obukutiya omuli ensingo ku ttaka zireme kwonooneka na kukwata.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:47Omuzigo ogw‘omutindo omutono guleeta amakungula amatono.
00:4801:10Okukungula shea obubi n‘enkwata yayo kuleetera ensingo obutamyuka bulungi.
01:1101:52Shea nuts zirina okukaatuuka obulungi.
01:5302:29Okukungula n‘okutereka shea nuts.
02:3003:11Kunganya shea nuts ezikuze obulungi mu mikebe emiyonjo. Ggyako ebikalappwa okuva ku nsigo za shea.
03:1203:41Kaza shea nuts zino wakati w‘ennaku 3-5 ku mikeeka oba amatundubali amayonjo.
03:4204:03Ggyako bikalappwa mangu naye tobisesebbula .
04:0405:01Yawule ensingo okusinzira ku mitendera zaazo.
05:0205:24Zawule era ozippakire naye nga tozibulizaayo mu kakutiya akatukula era ozanike mu kifo ekiseetevu.
05:2505:34Toziteeka ku ttaka.
05:3507:41Mu bufunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *