Okukozesa tekinologiya mu bulunzi – Okukebera embizzi ezisaze

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=PDbf_Xf2soM

Ebbanga: 

00:07:30

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2019

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agricultural Training Institute
Okukebera embizzi esaze kikulu nnyo mu kuwakisa embizzi mu ngeri etali ya butonde. Kino kiyamba okuzuula obudde obutuufu obw'okuwakisa embizzi mu mutendera gw'okuzaazisa embizzi. Noolwekyo kikulu okukakasa nti okukebera kuno kukolebwa bulungi. Zuula mu katambi kano enkola ttaano ez'okukebera embizzi esaze okufunamu obulungi mu kuwakisa.

Olw’okuba nti ziwa ekiriisa ekizimba omubiri, omutindo n’obungi bw’embizzi ezirundibwa ku faamu birabibwa okusinziira ku kika kya tekinologiya akozesebwa.

Nga okukozesa tekinologiya mu kulunda bwe kwongera okukozesa enkola y’okuwakisa embizzi mu ngeri etali ya butonde, okukebera embizzi ezisaze kikulu nnyo okusobola okukozesa obulungi enkwanso ezikungaanyiziddwa era n’okupima obudde bw’okuwakisizaamu kikulu nnyo mu kuwakisa.
Okukebera embizzi ezisaze
Embizzi enkazi eyazaalako oba etannazaala bw’ewakisibwa amangu nnyo oba edda nnyo, kiyinza okuvaamu obubizzi obutono n’okukendeeza okuzaala kw’embizzi olwo ne kireeta obwetaavu bw’okukebera ebiwandiiko okumanya oba embizzi enkazi yaggya obubizzi obuto ku mabeere okumala ennaku entuufu.
Okufaananako, okukebera embizzi ezisaze kisooka kukolebwa ng’okozesa obubonero bw’ebweru nga okumyuka obukyala, eminyira okuva mu bukyala, okubulwa emirembe, okufukira kumukumu, okulya emmere entono era ku bubonero nga obwo, kiba kiseera nga embizzi egenda kusala era tesobola kukkiriza kulinnyirwa era kino kitwala ennaku bbiri. Okusala okutuufu kujja oluvannyuma era kulabibwa ku bukyala obwa langi ya pinka era nga buzimbye nga muvaamu eminyira emitangaavu.
Mu mutendera guno, eyimirira n’enoonya embizzi ensajja era kano ke kaseera akatuufu ak’okuwakisa era embizzi ejja kukkiriza okulinnyirwa era kino kimala olunaku lumu. Enkola z’okukebera embizzi ezisaze endala y’enkola y’okuva embizzi enkazi e mabega n’enyigibwa mu mabbali ng’okozesa emikono.
Okwongerako, ekirala kwe kwerippa ku mugongo gw’embizzi enkazi era bweba tesaze, evaawo ate mu nkola endala, enkwanso zinyigibwa okuva mu ccupa ne ziteekebwa ku nnyindo y’embizzi era mu kuwunyiriza akawoowo k’enkwanso, embizzi enkazi eyimirira mu kifo kimu mu kukebera embizzi esaze. Enkola y’okukozesa embizzi ensajja etazaala nnungi nnyo okukebera embizzi esaze era okusikiriza ensajja kikulu nnyo okuleetera enkazi okubulwa emirembe nga oteeka ensajja mu mbizzi enkazi ezitayonsa oba ezitannazaala.
Okukebera embizzi ezisaze era kukolebwa nga embizzi enkazi n’ensajja zeesembereza ennyindo era enkazi bwebwa ekkirizza ejja kufuba okunoonya ensajja era eyimirire mu kifo kimu.
Ekisembayo, okuwakisa kulina okukolebwa nga embizzi enkazi eyazaalako oba etannazaala esaze.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:40okukozesa tekinologiya mu kulunda kwongera okukozesa enkola y'okuwakisa embizzi mu ngeri etali ya butonde
00:4100:51okukebera embizzi ezisaze kikulu nnyo okusobola okukozesa obulungi enkwanso ezikungaanyiziddwa.
00:5201:15okupima obudde bw'okuwakisizaamu kikulu nnyo mu kuwakisa.
01:1601:37kebera ebiwandiiko okumanya oba embizzi enkazi yaggya obubizzi obuto ku mabeere okumala ennaku entuufu.
01:3801:58okukebera embizzi ezisaze kisooka kukolebwa ng'okozesa obubonero bw'ebweru.
01:5902:16Mu kiseera nga embizzi egenda kusala eba tesobola kukkiriza kulinnyirwa era kino kitwala ennaku bbiri.
02:1702:57Okusala okutuufu kulabibwa ku bukyala obwa langi ya pinka era nga buzimbye nga muvaamu eminyira emitangaavu n'okuyimirira n'enoonya embizzi ensajja egirinnyira.
02:5803:50Oluvannyuma lw'okusala, embizzi enkazi edda mu nteeko.
03:5104:19Enkola z'okukebera embizzi ezisaze endala y'enkola y'okuva embizzi enkazi e mabega n'enyigibwa mu mabbali ng'okozesa emikono.
04:2004:42Mu nkola y'okwerippa ku mugongo gw'embizzi enkazi, embizzi enkazi bweba tesaze, evaawo
04:4304:50Enkola endala, enkwanso zinyigibwa okuva mu ccupa ne ziteekebwa ku nnyindo y'embizzi enkazi.
04:5105:15Mu kuwunyiriza akawoowo k'enkwanso, embizzi enkazi eyimirira mu kifo kimu.
05:1605:22Enkola y'okukozesa embizzi ensajja etazaala nnungi nnyo okukebera embizzi esaze. teeka ensajja mu mbizzi enkazi ezitayonsa oba ezitannazaala.
05:2305:35okusikiriza ensajja kikulu nnyo okuleetera enkazi okubulwa emirembe.
05:3605:53 embizzi ensajja eteekebwa mu mbizzi enkazi ezitayonsa oba ezitannazaala.
05:5406:14Ezo ezisaze ziyimirira mu kifo kimu.
06:1506:24Okukebera embizzi ezisaze era kukolebwa nga embizzi enkazi n'ensajja zeesembereza ennyindo.
06:2506:39enkazi bwebwa ekkirizza ejja kufuba okunoonya ensajja.
06:4006:46okuwakisa kulina okukolebwa nga embizzi enkazi eyazaalako oba etannazaala esaze.
06:4707:30Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *