Ekigimusa kya Urea kigimusa kyesimbu nga kyabutonde ekiyamba okulongoosa omutindo gw‘ettaka, kyongera nitrogen mu ttaka nekivirako okwongera ku makungula agava mu birime.
Ku ludda olulala ekigimusa kya Urea kirina ebirungi n‘ebibi nolwekyo okuyiga obukwakulizo obwenjawulo obwokumukozesa kiyambaokwewala ebibi ebiyinza okuva mu ku mukozesa nolwekyo kiba kyamugaso okugoberera obukwakulizo bwokumutekamu. Wabula, totekamu Urea nga tonasimba kubanga bwomutekamu nga tonasimba kimuletera okugwamu nga ebirime tebimufunyeemu.
Ebyokugoberera
Tekangamu Urea ku lunaku olunyogovu okwewala okufumuka nga omuka gwa ammonia era okakase nti tewali wadde oba waliwo embuyaga ntono nnyo kuba mu budde bw‘embuyaga Urea amenyeka mangu nga tananyikira mu ttaka.
Okwongerako kozesa ekigimusa kya urea n‘ekiziyiza urease nga tonasimba kuba urease kirungo ekyanguyisa urea okufuuka nitrate era kiyambako okumukumira mu ttaka.
Okweyongerayo urea musasanye abune bulungi okwetolola enimiro era otobye ettaka mangu ddala nga urea tanafuuka nitrate okusomola okukwatira ammnonia mu ttaka olwo okabale okunyikiza ekigimusa nga tekinafumuka nga ammonia.
Naye era wegendereze obungi bwa urea bwoteeka ku lumonde kubanaga ebika bya lumunde ebimu bisobola urea omungi ate ebimu bisobola mutono.
Okwongerako, urea mutekere ddala ku mpeke za kasooli ku lunaku olwekinyika gobe naye tokikola ebbugumu bweriba waggulu kubamaga kiyinza okuleeta okufirwa ammonia. Nekisembayo bwoba omutekamu, kakasa nti urea omutadde yinki 2 okuva awali ensigo y‘akasooli kubanga okuzikonyesako kwenyini kya bulabe era mpolampola kikendeeza amakungula.