Obumyu buzalira ku naku 30 okuva lwebuwaka, buzaala emirundi 4-5 mu mwaka. Bwoba otandika faamu ey’okuzaaza obumyu kakasa nti obusajja bulina emyezi 6-8 nga buzitowa kilo 2-3 era obukazi nga bwa myezi 6-7 nga buzitowa kilo 2.
Okugatako, ku naku 12-14 nga bwakalinyirwa kebera oba kawaka. Ebiseera ebisinga akamyu akali olubuto kazitowa gulamu 200g nokusingawo. Okwongerako, ku naku 14 nga kalinyibwa wewale okukwata ku lubuto era akamyu akali olubuto okakwate nobwegendereza okwewala okugyamu olubuto. Wewale okwezalamu nga oyawula obumyu obusajja n’obukazi ku myezi 3 okusobola okwewala obutazaala.
Endabirira eberawo
Tandika nakilonda akalume akalamu obungi wamu n’obukazi obunazaala nga obulume burina ensigo ezikuze obulungi era nga obukazi bulina enywato munana ezikuze obulungi.
Era togata obumyu obulume okwewala okulwanagana mu kayumba akaamu okukakasa nti buli mu mbeera enungi ey’obulamu.
Okugattako, kyusamu obulume obutali bwa mutindo okusobola okufunamu ennyo eraoyawule nga bwewetegereza obumyu obwakagulibwa okwewala okusasanya endwadde.
Okwongerako, kebera obukazi obusaze obutwale ku nume . Wabula bwebulemererwa okulinyirwa mu ddakika 2-5 butwalire akalume akalala.
Wandikanga olunaku kwebulinyidwa, erinya/omuwendo gw’obumyu obulinyidwa okumanya enzaala yabwo obukazi n’obusajja. Era okuwaka obulungi, butwale ku nume ku makya nnyo oba akawungezi.
Kakasa nti obulume obwakatandiika obuteeka mu bukazi obuledewo nga buzaala era okakase nti obulume bulinyira omulundi gumu mu lunakuokwewala okukoowa.
Ekisembayo, nga wabula enaku 5 okuzaala tekateka wekazalira otekewo ebisulwako ebikalu obwana okwebakako.