Enkola z‘omukka ogukoleddwa mu by‘obutonde (Biogas) tezisibiddwa ku lutabu lwa busa bwa nte bwokka. Ebikuta by‘obummonde, ebisosonkole by‘amagi wamu n‘obukunkumuka bw‘emmere bisobola okukozesebwa mu nkola z‘omukka ogukoleddwa mu bintu eby‘obutonde okukola omukka ogwo.
Okukozesa olutabu lw‘obusa bw‘ente mu nkola y‘omukka ogukolebwa mu bintu by‘obutonde kusobola okubeera kwa mulundi gumu oba ebiri mu wiiki awo emirundi egisigadde gisobola okuteekebwa ku nkozesa y‘ebitakyetaagisa ebivudde mu ffumbro.
Okukola omukka okuva mu by‘obutonde
Temaatema ebivudde mu ffumbiro bifuuke butundutundu okusobozesa awakolerwa omukka okufuna obulungi ebivudde mu ffumbiro nga biyita mu mumwa gwakyo.
Oluvannyuma lw‘okutemaatema ebivudde mu ffumbiro, gattamu amazzi okubiyambako okukkirira amangu wansi.
oluvannyuma lw‘okuteekebwa mu kifo omukka mwe gukolerwa, bijja kutandika okwemenyaamenya n‘okuvunda. Ebibirimu bikyuka okuyambako okukola engeri y‘amafuta agakoleddwa mu by‘obutonde n‘omukka gwa methane.
Ebirungi
Guyamba okulongoosa ebitwetoolodde, gukendeeza ku maanyi omuntu ge yandikozesezza era tekyetaaga kukisaasaanyizaako nnyo ssente.