Okukola nnakavundira kyongera kubugimu bw‘ettaka mungeri etayonoona butonde. Ekigimusa kya nnakavundira okuvuunda obulungi kitwaala wiiki mwenda.
Waliwo emigaso mingi egiri munkozesa y‘ekigimusa ki nnakavundira okugeza, ekigimusa kino kyangu kyakukola olw‘ensonga nti ebyetaago byonna byangu byakufuna, ekigimusa kino tekikosa butonde, kyalayisi okukikola, tekirina buzibu na bulamu bw‘abantu. Bwoba ng‘okola ekigimusa kya nnakavundira weeyambise ebikoola bya kiragala kubanga bino byanguwa okuvunda.
Byolina ogoberera
Londa ekifo wogenda okolera nnakavundira nga kyabugazi bwa sikweeya mita biri era bwomala sima ekinnya kya buwaanvu bwa ssentimita asatu nga bwoyawula ettaka ly‘okungulu.
Ssasanya ensekeseke z‘omuddo wansi mukinnya era bwomala ggatako ebikoola ebikalu oba ebyakiragala.
Eky‘obwekiba nga kiwedde gatta obusa bw‘ensolo kungulu, ozzeeko ettaka, wamu n‘ebikoola by‘akiragala.
Kungulu mansilako evvu, ogattemu amazzi kisobozesse evvu okweetabula obulungi n‘ebikoola wamu n‘emuttaka. Bino biddingane paka lw‘ebikola obuwaanvu bwa mita biri.
Kakasa nga obikka ekinnya omukolebwa nnakavundira n‘ebikoola ebikalu era oteekeko ettaka tono kungulu okweewala empewo okubifumuula.
Kyamugaso okuteeka omuti wakati mu kinya ekirimu nnakavundira kino kiyamba okukebera kubugumu lya nnakavundira.
Nekisembayo buli luvanntumma lwa wiiki satu kyusa kyusa nnakavundira okuva mukinnya ekimu okudda mukirala kino kiyamba okwanguya kunvunda ye‘kigimusa.