Ebiva mu ku kyukakyuka kw’embeera y’obudde mu Kenya byawukana okusinzira ku bitundu. Buli kitundu kisanga okusomoozebwa okw’enjawulo omuli ebbula ly’amazzi, emmere obutamala n’okwonooneka kw’omukka.
Okwokya amanda kuviirako okwonoona obutonde n’ebyo byonna ebikwatagana n’obutonde okugeza nga okutema ebibira. Okutema ebibira kwe kusawa emiti n’ekifo kyonna awali emiti. Okutema emiti kuleetawo okuteebwa kw’omukka. Ttooni 15 ez’obukuta bw’omuceere ze zifulumizibwa okwokyebwa oba okusuulibwa ekivirako okwonoona kw’obutonde. Obukuta bw’omuceere bwongera ku makungula singa bukozesebwa ng’ekizza ettaka obuggya n’ekigimusa .
Okukola amanda okuva mu bisigalira by’ebirime
Amanda gano gakolebwa okuva mu bisigalira by’ebirime . Kunganya obukuta okuva mu balimi bano era obutereke mu kifo ekirimu omukka omulamya ogw’ekigero n’ebbugumu lya diguli 300 zokka.
Oluvanyuma lw’essaawa bbiri ojja kusobola okufuna awatula ebyo ebyanguya.
Teeka ebikozesebwa wamu nga obukuta bw’emiti mu kyokero oluvanyuma obikke n’obukuta bw’omuceere kungulu. Oluvannyuma nga butandise okukyusa langi eya kyenvu okuva mu nzirugavu buba butuuse okuggyibwamu.
Sekula obukuta bw’omuceere obuddugavu n’oluvanyuma gattamu ebirungo obitabule n’obukuta bw’omuceere obwokeddwa omale obipakire.
Omutindo gw’ebigimusa
Okukebera omutindo kikulu nnyo bw’ekituuka ku bigimusa. Kakasa nti otuukiriza lwakiri ebitundu 95 ku buli kikumi eby’okukyusa ebisigalira by’ebimera n’ensolo okufuna ekirungo kya carbon n’oluzzizi lulina okuba nga lwa kigero ekiri wansi w’ebitundu 20 ku buli kikumi.
Okusinzira ku ttaka ebbugumu n’obunyogovu bisobola okukyusa ekipimo ky’olunnyo gw’ekivamu eky’enkomeredde.
Kakasa nti mu kupakira omuwendo gw’ekirungo gw’ottekamu n’obungi bw’amanda agakoleddwa okuva mu bisigalira by’ebimera byogenda okutabula by’enkanankana.