Okukola eddagala lino, weetaaga 50g za katunguluccumu, ntangawuzi ne kaamulali. Okukola eddagala eritta ebiwuka, ggyako ebikuta bya katunguluccumu n’entangawuzi osotte ebirungo ng’okozesa ekyuma ekisogola (blender) oba omusekuzo.
Emitendera emirala
Oluvannyuma lw’okusekula, teekamu liita emu ey’amazzi mu kintabuli otabule bulungi n’akati oba ejjiiko. Bikka ekintabuli okirekewo okumala essaawa 12 mu kisiikirize.
oluvannyuma lw’essaawa 12, tabula ekintabuli era osengejje olwo okozese ebisigalira okukola nnakavundira. Gatta liita emu ey’amazzi mu kintabuli okikozese ku bimera.
Naye tewali bwetaavu bwa kwongeramu mazzi ekirime kyo bwekiba nga kirumbiddwa ebiwuka bingi.
Ekintabuli kiteeke mu bbomba era ofuuyire ebirime byo.
Kino kikuuma ekirime kyo nga tekirumbibwa biwuka okugeza obuwojjolo obutono (aphids), mites, mealy bugs n’ebirala.
Eddagala eritta ebiwuka lirina okukozesebwa kumakya oba olweggulo era jjukira okunaaba engalo oluvannyuma lw’okulikozesa okuliziyiza okukugenda mu maaso.