Okukaza kamulaali nga okozesa amaanyi g’enjuba

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/solar-drying-chillies

Ebbanga: 

00:11:35

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agro-Insight
Kamulaali bwasigala nga mubisi, amerako empumbu era nayononeka. Empumbu emu ekola obutwa obuyitibwa afflatoxin obwetabu eri abantu. Okwanguya okukala n'okukaza emere yo nga nyonjo osobola okozesa ekyuma ekikozesa amanyi g'enjuba nga kikozesa bugumu liva ku musana okukaza ebibala n'enva endirwa. Ebyuma ebikozesa amanyi g'enjuba bigira mu ndabika n'obunene bwabika bingi, naye enkola esigala y'emu. Mu lutambi luno, tugenda kuyiga engeri y.okukola n'okukozesa ekyuma ekikaza nga kikozesa manyi g'anjubaokukaza kamulaali.
Kamulaali bwasigala nga mubisi, amerako empumbu era akola obutwa obuyitibwa afflatoxin obwetabu eri abantu. Ekyuma ekikozesa amanyi g’enjuba kyanguyisa okukaza nga kikuuma n’obuyonjo nga kikozesa ebbugumu eriva ku musana. 
Okukazisa amanyi g’enjuba kulimu ebimgaso egyenjawulo okugamba: Kyetagisa obudde butono, kikuuma langi ya kamulaali, kyewala okumerako empumbu, kiziyiza ebisasiro okugendamu ate nga kikaza emere ey’enjawulo. 

 Okukola ekyuma ekikaziza amaanyi g’enjuba

Ebikozesebwa: embaawo, emisumali, obukondo, kufulu wamu n’ebaati elya pulasitika.
Tandika nga okola emyango mu mbaawo nga osinzira ku bugazi bw’olubati, ebaati lisige langi enzirugavu okusika ebbugumu okuva ku musana. Olwo okole ekikaza kya mita 3 obuwanvu, ekimeza kya 95cm era 110cm emabega. 
Kum mita 3 mubuwanvu kozesa amagulu 3 ku buli luuyi okwongera okunywera era ekya waggulu okisulikemu. Kola empagi ewanirira ya 10cm okuva wansi okuyambako okusulika olusaniya. Naye kola emilyango 2 emabega egyokuyiosamu ensaniya okuyingira nokufuluma era obike emyango nga okozesa ekiveera okulaba nga empewo esobola okuyingira okuva ku njuyi zombi. Sindika olusanyiya lwa wansi 10cm okuyingira mu kyuma ekikaza empewo ekaze kamulaali omulundi gimu.  Ekisembayo,bika enjuyi empanvu ez’enziji nga okozesa obutimba bw’ensiri okwewala enfuufu n’ebiwuka  okuyingira era otekeko akanyolo akatono olugyi okusigala nga lwegadde. 

Engeri y’okukazamu n’amanyi g’enjuba

Naaba emikono okukuuma ekintu nga kiyonjo, teeka ekyuma ekika mu musana, osasanye kamulaali ku lusananiya lwa wansi oluteeke mu kyuma. Naye kuuma enzigi z’ekyuma nga nzigale okulaba nga ensowera teziyingira. Mu biro ebinyogoga ekyuma kikumire mu nyumba okwewla okumerako empumbu. 
Nga wayise enaku 2 kebera oba kamulaali akaze omupakire omutereke. 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0002:14Okukaliza kamulaali wansi kitwala obudde. Okozesa amaanyi g'enjuba kyanguya ku lugendo.
02:1503:02Ebyuma bya manyi g'enjuba bikozesa ebbugumu eriva ku njuba okukuuma ebbugumu nga teriokyukakyuka.
03:0303:20Ebirungi byokukazisa amanyi g'enjuba.
03:2105:11Kyetaaga obudde butono, kikuumalangi ya kamulaali, kiziyiza empumbu, kyewala ebisaniko ngate kikaza emere ey'enjawulo.
05:1205:18Okukola ekyuma ekikaza nga kikozesa manyi g'anjuba
05:1905:34Ebikozesebwa: embaawo, emisumali, obukondo, kufulu wamu n'ebaati elya pulasitika.
05:3505:55Tandika nga okola emyango mu mbaawo nga osinzira ku bugazi bw'olubati, ebaati lisige langi enzirugavu .
05:5606:09Olwo okole ekikaza kya mita 3 obuwanvu, ekimeza kya 95cm era 110cm emabega.
06:0706:31Kum mita 3 mubuwanvu kozesa amagulu 3 ku buli luuyi okwongera okunywera era ekya waggulu okisulikemu.
06:3206:42Kola empagi ewanirira ya 10cm okuva wansi.
06:4307:26Kola emilyango 2 emabega, obike emyango nga okozesa ekiveera, osulikemu ku lusaniya lwa wansi 10cm okudda mu kyuma.
07:2708:20bika enjuyi empanvu ez'enziji nga okozesa obutimba bw'ensiri okwewala enfuufu n'ebiwuka okuyingira era otekeko akanyolo akatono olugyi okusigala nga lwegadde.
08:2108:29Okukaza kamulaali n'amaanyi g'enjuba
08:3008:58Naaba emikono okukuuma ekintu nga kiyonjo, teeka ekyuma ekika mu musana, osasanye kamulaali ku lusananiya lwa wansi oluteeke mu kyuma.
08:5909:21Kuuma enzigi nga nzigale. Mu biro ebinyogovu ekyuma kikumire mu nju.
09:2209:47Nga wayise enaku 2 kebera oba kamulaali akaze. Mupakire omutereke.
09:4811:35Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *