Okukazisa olutandaalo olweyambisa amaanyi g‘enjuba kisobozesa abalimi b‘enva endiirwa nabatunzi okukendeeza kukufirizibwa nebatunda enva endiirwa ez‘ebikoola namakungula n‘ebwegaba gawedde kuba enva ediirwa zonooneka mangu ennaku ntono nnyo nga zikunguddwa.
Ebikoola bya kale ebyanikiddwa obulungi bivaamu eddobozi erimementuka bwebiba bikwatiddwamu naye ebyo ebyanikiddwa ekisusse bifuuka byakitaka era kino kikosa omutindo gwabyo.
Engeri gyebikazibwamu
Kungula ebikoola ebyawansi ebyakiragala, jjamu ebiwuka n‘obukyafu wabula tonogako bikoola byakiragala ebikyakula kuba kino kikonzibya enkula y‘ekirime. Naaba engalo namazzi omuli ssabbuuni, londa ebikoola ebirungi obijjeko obukonda kuba bukalubya mukulya. Oluvannyuma byoze emirundi ebiri n‘engalo ennyonjo namazzi okukakas nti bitukudde bulungi n‘ebiwuka bijjidwamu.
Binnyike mu mazzi ag‘ekibugumirize omuli omunnyu okubigonza, beera ng‘obikyusa okukakasa nti byonna bigonze wabula wewale okubitokosa mu mazzi kuba kino kibiretera okuggwamu ebiriisa, oluvannyuma bisse mumazzi agannyogoga okusobola okubizza obuggya. Bwomala bisse ku katimba okawanike waggulu bigwemu amazzi olwo obyanjale mu butimba bwa sola ddulaaya bisobole okukala.
Oluvannyuma lwennaku 2 kebera ku bikoola olabe, bikola eddoboozi erimementuka nga bikwatiddwa kuba olwo biba bikaze. Pakira, osibe ebikoola mu buveera olwo osse mu kintu ekitayisa mpewo okwewala enfuufu, obunyogovu, n‘obukuumi obwenjawulo, n‘ekisembayo tereka ebikoola ebipakire mu kisenge ekiyonjo ekitatukamu buterevu musana.