Amaliba g‘ensolo bybimu ku biva ku bisolo ebikozesebwa mu malolero g‘ebyambalo n‘amakolero amalala era nga omutindo gwebyo ebivaamu gusinzira ku nkaza ya ddiba.
Amaliba amagonvu gajibwa ku nsolo nga embuzi, empeewo, endiga, endogoyi, engabi ate amaliba amagumu gajibwa ku nsolo enene. Wabula, mukugongerako omutindo, eddiba linyikibwaera oluvanyuma neritekebwako omunnyo oba okuganyongoza nga okozesa eddagala.
Enkwata y‘amaliba
Nga eddiba limaze okutoba, kolokotako enyama embisi nga okozesa akaso akatasala era oddeyo okugyamu amasavu okusobozesa eddaagala eririgonza okuyitamu amangu. Kozesa sabuni w‘obuwunga n‘eddagala eddala kuba bigyamu olusavusavu.
Okugatako, eddiba olwo litekebwa mu mazzi amatabule okumala enaku entonotono era nga kino kyona kitwala wiiki. Eddiba olinyulule mu mazzi mweryanyikibwa awo odde ku mutendera omulala. Bwomala eddiba lifulumye otekeko ekirungo ekilikuuma.
Mu ngeri yeemu, sigako olububi lwa oyilo aligonza, olireke okumala enaku entotono olwo olikazze. Eddiba liteeke ku lubaawo okukala nokulikomola era bwerikala, kalakatako ebikalapwakalapwa. Oligye ku lubaawo era olikomole nga okozesa makansi.
Nekisembayo ligonze n‘emikono nga olikuuba maso n‘emabega era olikuute nga omutendera ogusembayo.