Enjuki zirundibwa kulw’ensonga eziwerako naye nga okunsingira ddala kufunamu mubisi. Mu katale, omubisi gukenenulwa nga okozesa akuuma naye abalimi abawansi bakozesa ebintu ebyabulijjo okukamula omubisi.
Mu kukamula omubisi nga okozesa enkola eyokunyiga nokukamula, wetaaga ebakuli omutabulirwa, akakuba, ekijiiko, akalobo akalimu a tapu k’omubisi wamu akasengejja nga kansusu bbiri. Okugyamu omubisi, teeka okisu omuli omubisi mu bakuli omutabulirwa era ogikgwate nga oyimiridde.
Emitendera
Sena ekirimba omuli omubisi okigye mu muzinga oteeke mu bakuli nga okozesa ekijiko. Sena ebirmba bingi ddala okuva ku njuyi zombi naye nga wegendereza obutayonona musingi enjuki kwezizimbira omubisi.
Nga okozesa akakuba, menyamenya ebirimba omuli omubisi okugyamu omubisi omungi nga bwekisoboka. Nga omaze okukubakuba, kenenulira omubisi mu kalobo naye nga omubisi oguyisa mu kasengejja akemibiri ebiri nga tegunatuuka mu kalobo.
Akamu ku busengejja kalina okuba nga ka bituli bineneko era nga kabeera wabweru ate nga kali akalala kabutuli butono nga kabeera munda . Bino bireke akabanga okumala esaawa entonotono omubisi gukenekuke guyiike mu kalobo.
Sumulula ka taapu kayisemu omubisis guyiike mu mikebe mwegutundirwa, tekako siiru era ogulambe nga olwo otwala kutunda.