Ebbanyi kirwadde kya bulabe mu birundibwa era kireetebwa nnyo obukyafu ate kisaasaana okuva ku nnywanto emu okudda ku ndala, era ensolo zikebere okulaba ebbanyi nga tonnakama.
Ebbanyi lirina obubonero obuwera mu nsolo okugeza ensolo egaana okukamwa, ennywanto eziruma, enjatika ku kibeere, ekibeere okuzimba ennyo, okulya ekitono, amata ag‘oluzzi, amata ageekutte n‘omusaayi mu mata. Okukebera ebbanyi kikolebwa ng‘oggya amatondo matono mu buli nnywanto n‘ossa mu kikozesebwa okukebera ebbanyi (mastitis kit).
Okuziyiza ebbanyi
Kuumanga ekiraalo ky‘ente nga kiyonjo ng‘oggyamu ebimere ebigudde n‘obusa buli kadde.
Oluvannyuma kama ente mu kifo ekiyonjo ekyesuddeko okuva we zisula.
Naaba engalo n‘amazzi amayonjo agalimu sabbuuni nga tonnakama okwewala okusaasaanya obuwuka okuva ku nsolo endwadde okusiiga ennamu.
Okwongerezaako longoosa ekibeere ky‘ente n‘ennywanto era ozikaze n‘olugoye oluyonjo.
Tokamisa maanyi okwewala ebisago ku nnywanto ebyandireetedde obuwuka okuyingira.
Yongera ku busobozi bw‘ensolo okulwanyisa ebbanyi ng‘oliisa bulungi ensolo era n‘obujjanjabi obulungi.
Ng‘okama maliramu ddala amata mu kibeere okwewala obuwuka okukulira mu mata agaba gasigalidde.
Kikulu okuliisizaawo ente nga waakamala okukama okuzeewaza okwebaka wansi kubanga kino kuyinza okuzireetera obuwuka okuyita mu nnywanto.
Ekisembayo ente ziwe n‘eddagala ly‘ekinnasi okutumbula obusobozi bwazo okulwanyisa endwadde.
Okujjanjaba ebbanyi
Sooka onyigeenyige ekibeere n‘ennywanto n‘amazzi g‘ebikoola by‘amapeera agabuguma.
Ekyokubiri siiga butto atabuddwamu ebinzaali ebirimibwa n‘omunnyo ku nnywanto ezikoseddwa.
Ekirala omubisi oguva mu bikoola bya neem, basal, amazzi ne butto ava mu birime ku nnywanto enkosefu emirundi ebiri olunaku.