Ebireeta enswera n’okuzitangira
Waliwo ebintu eby’enjawulo ebireeta enswera ku faamu z’enkokoera ebimu ku byo mulimu okwetuuma kwa kalimbwe, ebitundutundu ebibisi, ebisigalira by’emmere n’emmere embisi. Wabula, waliwo empenda nnyingi ezisobola okuteekebwa mu nkola okuziyiza enswera ku faamu era mu zino mulimu okukakasa nti faamu nnyonjo n’okwewala okutuuma kwa kalimbwe. Ekirala, ggyangamu obukuta obubisi era oteekemu obukalu okuziyiza oluzzizzi wamu n’okuggyamu emmere esigalidde.
Obulwadde obuleetebwa
Enswera zireeta obulwadde obw’enjawulo ku faamu z’enkoko okugeza obwa clostridium botulinum, buno bulwadde obuleetebwa obuwuka obuva mu magi g’enswera. Okwongerako, obulwadde bwa Salmonella, buno busobola okukosa ebinyonyi n’abantu. Ekisembayo, enswera zireeta envunyu ku nsusu z’enkoko ekireeta ebiwundu ku bitundu by’enkoko ebigonvu.