Okukalirira n’okwanika mitendera mu lujjegere lw’okwongera omutindo ku semutundu omuntu byasoboal okugezesa. Abatandika obutandisi, kiyinza obutabakakatako okubeera n’ebidiba byebyenyanja oba okulunda semutundu zogenda okukalirira n’okukaza. Osobola okugula obuguzi okuva eri abazirunda gwe noyongerako omutindo.
Ebikola ebyetagisa
Ojja kwetaaga ebyenyanja byewerundide oba byoguze wamu n’ekyoto (oven) ekisobola okubeera eky’amanda, amasanyalaze oba omukka (gas). Era wetaaga olubaawo kwotemera, akambe wamu n’omunnyo okutangira okwononeka.
Mu kupakinga, wetaaga byonopakinga mu nga obirabye wamu n’ebbaluwa ekukiriza okukola (licence) okuva eri ekitongole ekikwasanya okutunda mu butale bw’ebweru.
Okwongera omutindo ku byenyanja
Nga omaze okufuna ebyenyanja, bipime, obiteeke mu kalobo ogatemu omunnyo olwo obikeko okwewala ebyenyanja okuvunda.
Kozesa amazzi okwoza ebyenyanja ogyeko ebyenkira n’ebiviri.
Ebyenyanja binyike mu mazzi amatabule mu ommunyo, nga wano oteeka ebyenyanja mu kalobo olwo noyiwamu amazzi agatabudwamu omunnyo. Amazzi g’omunnyo gayamba okubikuuma nga btebiwunya, gongeramu ku buwomi bw’ekyenyanja. era okukalubya n’okugumya eddiba ly’ekyenyanja.
Ebyenyanja bitegeke ku kyoto obikalirire okumala enaku 1ku 2okusinsira ku bugume lyobikalirirako. Kendeeza omuliro gw’ekyoto olabe nga ebyenynaj tebikakanyala oba okusirira.
Bwomala, ebyenyanja bigye ku kyoto, obilongoose, obipakire bitundibwe ebweru.