Epaapali kibala kya mauti era nga lirina emigaso mu kiriisa sako neddagala. Epaapali terisobola kugumira kyeeya banga gwanvu kubanga emirandira gyago gikosebwa mangu amazzi bwegatubira.
Amapaapali gakula bulungi mu bifo ebye buggumu nga ebbugumu liri wakati wa digguli 20 ku 30. Mu ttaka eridugavu nga litambuza amazzi bulungi nga liwewuka nga mulimu obugimu. Ensigo zisobola okusimbibwa zenyini mu nimiro oba okumerusibwa mu beedi, mu kaveera oba bu kalobo. Wegendereze nga okkwasanganya ensingo okwewala okumenya emirandira.
Okusimba amapaapali
Ettaka mu buveera lirina okubamu obugimu obumala, nga mutabudwamu ekigimusa kya NPK okwongera ku bugimu mu ttaka wamu nokureeta ebiriisa mu ttaka.
Sima ebinya by 60cm ku 60cm nga byeyamude 3m. Bwomala okusima ebinya yawula 1/3 ekye ttaka elyokungulu okudda ku dyo era neddala 1/3 ku kono.
Okugatamu ebigimusa
Tabula ebigimusa mu ttaka lyokungulu olize mu kinya okwewala okukaluba.
Teeka endokwa wakati mu kinya era ogibike bulungi egumire. Fukirira endokwa ku makya n’olweggulo.
Simbamu ebirime ebirala nga ebijjanjalo ebigata Nitrogen mu ttaka. Ebijjanjalo bikola ebikoola ebikutte nebikendeeza ku sente zokukoola. Buli mwezi tekamu NPK wamu nokufuyira ebikoola okwewala okugwesa ebiriisa kwosa nokwewala obuwuka.
OKukungula amapaapali
Amapaapali gatandika okumulisa ku myezi 5-8 nga gamaze okusimbibwa era gatuuka okungulwa mu myezi nga ebiri okuva lwegamuliisa.
Epaapali liba likuze singa litandika okufuuka kyenvu. Bwoba okungiula, nyoola epaapali okutukuka oba osobola okulisazisa akambe.