Okutereka ebijanjaalo
Ekisooka, nga tonnabitereka, bikaze bulungi mu kasana ku ttundubaali, bironde era obiyiwe munda mu kidomola ekiyonjo, kinyeenye era okibikkeko akaveera akagonvu osseeko akasaanikira k’ekidomola okanyweze olambeko ennaku z’omwezi z’okisibiddeko n’ekigendererwa. Ng’omaze okussaako akasaanikira, kireke okumala lwakiri omwezi nga tokibikkudde okutuuka mu budde bw’okusimba okwewala empewo okuyitamu ekireetera amagi okwalulwa.
Ekisembayo, ebijanjaalo eby’okusimba tobitereka okusukka emyezi 6 mu kidomola kubanga omutindo gw’ensigo guyinza okukendeera.