Pasteurization kwekubugumya amagi okutuuka nga obuwuka bufudde mu ggi naye nga tolifumbye kugya. Nayo ngeri yakwongera mutindo ku magi era eyamba okwongera ku buwangaazi bwamaki paka ku myezi 15.
Enkoko ezibiika amagi agokubugumya zirina okuba nga bazirundira mu biyumba biyonjo era amagi galina okugibwamu amangu ddala nga gakabikibwa okwewala okujamawala.Nga tonagabugumya, amagi basooka kugooza mu mazi agabuguma nga mulimu ko sabbuni ne chlorine, nonyumunguza mu mazzi agabuguma olwo noganiika. Bwobeera ogooza, wetegereze oba kuliko kalimbwe,ku ggi era omwozeeko, kebera oba eggi liriko olwatika era bwerubako, oligyemu.
Emitendera nga obugumya
Bwoba omaze okugooza, amagi gakube gatike era nogakubamu ettala okukakasa nti ago agalinamu amatondo g‘omusaayi nago agavunze ogagyamu era nogasuula. Bwoba ogaasa, salawo oba oyagala kubugumya malamba, agalimu amazzi ameeru oba njuba yoka era bwoba oyagala byeru byoka oba njuba, byawule nga ogaasa.
Bugumya amagi ku buggumu lya diguli 56-60 mu kyuma ekitalina buwuka (sterilized pasteurizer).
Nga omazze okugabugumya, gateeke mu machupa agobunene obwenjawulo okusinzira ku bwetaavu mu katale. Abasinga okugula amagi gano babeera bantu ababeera mu byokukola obunyama, abakola keeki nga bagakozesa okutonatona nabo abakozesa keeki nga ekyokulya ekisokerrwako ku makya.