»Okubikka ennimiro yo ey’enva endiirwa«
Okuggyako enkola ey’okufukirira amazzi, okubikka nayo nkola ey’okukuuma obungi bw’obuweweevu obulungi eri ebimera mu ttaka.
Ebibikka lwe lusengeke lw’ebintu ebiteekeddwawo ng’ekikuuma ettaka erisooka kungulu nga bino biyinza okubeera nga akaveera, ekikoleddwa mu bigoogwa, ensekeseke n’obukuta bw’embaawo. Ekikozesebwa kisinziira ku ki ekirina okumalirizibwa, wabula, okubikka kwongera ku bulamu bw’ettaka, kinyigiriza era kiziyiza ebimera ebyonoona ebirime mu nnimiro.
Enkola z’okubikka
Nga nnakavundira bw’akozesebwa ng’ekikunta okubikka ettaka erisooka kungulu, tabula omuddo omubissi n’ebikoola by’emiti ebikalu oteeke ku mmerezo y’ensigo, so nga mu kukozesa obukuta bw’embaawo, kikuumira wamu ekirungo kya nitrogen okumala akabanga. Kozesa ensekeseke ezitukula obulungi okubikka emmerezo, oluvannyuma ezifuuka ekigimusa eky’obutonde okukuuma ettaka nga ggweweevu nga lirina obungi bw’oluzzizzi obumala.
Mu ngeri yeemu, ku bibikka nga bwe bimera, bibikka ettaka nga bwe bivaamu ebimera ebirala, era biggibwa ku bimera ebikula nga bibikka ettaka. Mu kukozesaenkola y’okutema olyoke obikke, ebirime bikungulwa, bitemwatemwa era ne bizzibwayo mu nnimiro ng’ebibikka.
N’ekisembayo, tuuma ebibikka okwetooloola ekirime nga ebibikka biweza obugulumivu bwa yinci bbiri era ofukiririrewo.