»Obuwuka obusirikitu obuyamba ebirime n‘ettaka«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/good-microbes-plants-and-soil

Ebbanga: 

00:13:30

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Atul Pagar, WOTR
»Mu katambi kano, tuyiga ku kigonjoola ekitumbula enkula y‘ebirime, ate mu kiseera kye kimu kikuuma ebirime obutafuna bitonde byonoona birime n‘endwadde.«

Abalime batera okwonoona ssente nnyingi ku bigimusa ebikolerere n‘eddagala erifuuyira ebirime.Wadde kino kiyinza okuwa amakungula amanene me bbanga ettono, okukozesa eddagala lino liyinza okukosa ettaka, ebyetooloddewo n‘abantu kubanga litta ebitonde ebibeera mu ttaka.

Ettaka eddungi kkulu eri ebirime okubisobozesa okukula obulungi era obuwuka buno obusirikitu buyamba kubanga buliisa bulungi ebirime wamu n‘okuwa ettaka ebiriisa olwo ebirime ne bikuumibwa eri endwadde.

Ebigonjoola eby‘enjawulo bisobola okutegekebwa okuyamba obuwuka obusirikitu obw‘omugaso okukulira mu ttaka. Ebigonjoola bino bya butonde era bikolebwa okuva mu birungo ebiriwo ku ssente ntono.

Obuwuka buno tebuteekabuteesi birungo mu ttaka wabula bwongera ne ku makungula.

Preparation of organic solution

Ebirungo ebyeetaagisa mulimu: kilo y‘ensaano erimu ekirungo ekizimba omubiri okugeza ensaano ya kawo, ekibatu kya sukaali, kilo emu ey‘obusa bw‘ente obubisi, kilo emu ey‘ebikoola bya neem, liita y‘omusulo gw‘ente ne liita kkumi ez‘amazzi.

Tabula ebirungo bino byonna mu kalobo kimu ku kimu. Tabula obusa obubisi n‘amazzi era ogattemu kalobo omuli ebirungo ebirala okukola ekintabuli. Gatta amazzi mu kintabuli era otabule ng‘okozesa omuti emirundi ebiri olunaku okumala eddakiika ttaano olwo obikke ku kalobo n‘ekisaanikira.

Ekitabuddwa kituuka okukozesebwa oluvannyuma lw‘ennaku kkumi kuba obuwuka obusirikitu buba bukuze nga bwekubisizzaamu era nga busobola okukozesebwa. Omuntu asobola okutegeera nti ekintabuli kituuse okukozesebwa okusinziira ku kasu akakivaamu.

Ebirungo n‘enkozesa

Ebikoola bya neem ebikozesebwa biyamba okutangira ebitonde ebyonoona ebirime okugeza obuwojjolo obweru obutono n‘enfuuyirize mu birime, ensaano erimu ekirungo ekizimba omubiri era eriibwa obuwuka obusirikitu obw‘omugaso, omusulo gw‘ente guwa obuwuka obusirikitu obw‘omugaso ekirungo kya nitrogen, amazzi gawa obuwuka obwo ekifo awookubeera ne bwekubisaamu ate obusa bw‘ente bulimu obuwuka obw‘omugaso bungi.

Mu nkozesa, teeka ekintabuli ku nsigo okuzijjanjaba era ozikalize mu kisiikirize. Ekintabuli kisobola okuteekebwa ku mirandira gy‘endokwa okuziyamba okukula.

Okufuuyira ebirime, saabulula liita emu ey‘ekintabuli ne liita 1oo ez‘amazzi omulundi gumu mu wiiki oba gumu mu wiiki bbiri ng‘ebimera bikula, bimulisa n‘okuteekako ebibala. Ekintabuli kisobola okukozesebwa okuwa ettaka ebirungo.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:21Ebirime ebirungi byetaaga ettaka eddungi eririmu obuwuka obusirikitu obuyamba okuliisa ebirime.
01:2201:52Abalimi bategeka ebigonjoola eby‘enjawulo okuyamba obuwuka obusirikitu obw‘omugaso okukulira mu ttaka.
01:5302:27Ebirungo nga kilo y‘ensaano ya kawo, ekibatu kya sukaali, kilo emu ey‘obusa bw‘ente obubisi, kilo emu ey‘ebikoola bya neem bikozesebwa okukola ebigonjoola eby‘obutonde.
02:2803:58Enteekateeka y‘ekintabuli ky‘okukola ekigonjoola eky‘obutonde olw‘obuwuka obusirikitu.
03:5905:07Okutabika ebikoola bya neem, amazzi n‘omusulo gw‘ente mu kalobo kikolebwa okukola ekintabuli.
05:0805:53Kuumira ekintabuli bulobo obutayitamu mpewo ewatali kasana kuba kitta obuwuka obusirikitu obw‘omugaso ate n‘enkuba ejja kubisaabulula.
05:5407:05Ekitabuddwa kituuka okukozesebwa oluvannyuma lw‘ennaku kkumi kuba obuwuka obusirikitu buba bukuze nga bwekubisizzaamu. Era nga bisobola okukozesebwa okutuuka ku myezi esatu.
07:0608:51Sengejja ekintabuli era oteeke ku mirandira okusobola okukula.
08:5210:07Saabulula ekintabuli n‘amazzi bwoba ogenda kufuuyira birime. Longoosa bulungi ekifuuyira.
10:0811:25Ettaka lisobola okugimusibwa okukozesa ekintabuli ekisengejjeddwa era kisobola okuteekebwa mu miti gy‘ebibala.
11:2613:30Mu bufunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *