Olw‘okuba nti obutunda bulimu ekirisa ,buli ku katale kawagulu nnyo, wabula ennima y‘abwo ekosebwa nnyo enkola z‘okulima embi.
Enkozesa y‘ebigimusa y‘emu ku nkola ,wanno ebigimusa biteekebwa mu nnimiro mu wiiki bbiri era ng‘ekika ky‘ekigimusa ekisinga obulungi kiyitibwa (NPK CAN ne super grow).
Ku myezi essattu,ebibala bitandiika okulabika ko nga bitonotono wabula ne byeyongera ku myezi mukaaga
Endabirira y‘ebibala.
Mu myezi essattu egisooka,tteeka mu ebigimusa era obikozese buli luvannyuma lw‘emyezi essattu.Kozesa ebigimusa ebiyitibwa CAN ne NPK osobole okufuna amakungula amalungi n‘ekimera okukula amangu.
Mu kwongerako,empiira ez‘omuttaka ze zikozesebwa mu kufukirira,Tteeka taaapu mu buli mita kummi osobole okufukirira obulungi ennimiro yo era owanirire ebimmera byo.
Mu kufundikira,kozesa obutimba obulungi mu kulima n‘okukuza obutunda obulungi.