Emmere y’ebisolo kye kimu ku nsonga enkulu ezitawanya omulimu gw’obulunzi nga ogaseeko omutindo n’obungi bw’ebifunibwa mu mulimu ogwo.
Engeri abalunzi gye babulwamu emmere erimu ekiriisa okuwa ensolo zabwe ekiva ku bbula ly’omuddo omukalu, ekirungo ekiggumya amagumba obutamala ekivirako ebisolo okukula obulungi, okulwawo okuyonsa mpozzi n’enzaala embi.Kino kikossa nnyo naddala ente eza mata ezisinga okuleeta amagoba.
EBBULA LY’EBIRUNGO
Ekirungo ekiggumya amagumba bwekiba ekitono kinafuya amagumba g’ensolo,ebbula ly’ekirungo ekiggumya amagumba kireetera ente okulwala naye,olina okukubira omusawo amangu ddala asobola okuwa ente ekirungo ekiggumya amagumba kuba eyinza okufa. Ente zitereka ekirungo ekiggumya amagumba mu magumba gaazo.
mu ngeri y’emu , ekirungo ekiggumya amagumba kiva mu birime ebyongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka n’olwekyo ente ziwe kilo 2 ez’omuddo ogwongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka, ebisoolisooli n’omuddo ogutemeddwatemeddwa buli lunaku . Ebisolo biwe ebikoola ebirimu ekirungo ekiggumya amagumba emirundi ebiri mu wiiki era onyike ensigo za ppamba ekiro kiramba era owe ente kitundu kya kilo buli lunaku. Buli nte giwe kilo 2 ez’omuddo oluvanyuma lw’okukama n’emmere emala mu budde bw’ekyeya.
Weyongereyo nga okuwa ente erina eggwako emmere etabuddwamu ebirungo naddala mu myezi essatu ezisembayo nga eri ggwako oluvanyuma lw’okuzaala n’omwezi gumu nga emaze okuzaala giwe giwe emmere etabuddwamu ebirungo bya 250g. Tabula kilo emu eya kalo n’akalodo obiwe ente oluvanyuma lw’okuzaala n’emu mwezi gumu nga emaze okuzaala, giwe ebikoola ebikaawa buli lunaku.
Tabula ensano y’ebisusunku bya magi mu mazzi era obiwe ente. Teekamu ekitundu kya kilo ya lime ow’ensaano mu nsuwa. era obinyike okumala ekiro kiramba mu lita 5 ya mazzi olwo ku makya yolako olububi lwa mazzi ga lime okuva mu nsuwa.
Mu kumaliriza, gatabule mu mmere obiwe ente wabula singa bigaana olina okubira omusawo.