Obulwadde bwa Bovine viral diarrhea virus bulwadde okukwaata ennyo obukwaata ente kumyaaka gyonna.
Obulwadde bwa BVDV buleeta ebizibu mumbeera z’obulamu okugeza ente eziyina amawako bwezikwatibwa, zivaamu amawako oba okuzaala obuyana nga bufudde. Ensolo ezikwaatidwa ebiseera ebisinga zifuna ekiddukano, amabwa oba ebuzimba obuvaamu omusaayi. Obulwadde bwa BVDV bumalamu omubiri gw’ekisolo ekirwadde amaanyi nebuguletera okulumbibwa enddwade enddala nga ekiddukano. Obulwadde bunafuya ekisibo nebukendeeza kubiva munte saako n’okukendeeza kumagoba.
Ebika by’obulwadde
Obulwadde bwa Bovine viral diarrhea virus bwabika bibiri kwekugamba transient ne persistent. Obulwadde ekika kya Transient buwona mangu, ekisolo kiba kisiiga nga ky’akakwatibwa naye bulijo kiwona nekifuuka ekitakwatibwa bulwadde bwa BVDV bulala byonna.
Mubulwadde bwa Persistent, ensolo bulijo ziwangaala nekirwadde kya BVDV era kisigala kikwaata. Bwonna ebisolo ebiyina ekirwadde kya persistent bizaalibwa nakawuka era ante obuyana obulwalidde ddala bubeera bunafu era nga bulwadde naye ate obumu busobola okulabika nga obuli obulungi.
Entangira y’obulwadde
Obulwadde bwa Bovine viral diarrhea busobola okuyimirizibwa wokka nga ensolo ezirwalidde ddala nga zitegerekese nga bukyaali era nezigibwaawo nga tezinalwaaza nddala.
Enkola ez’okutangira obulwadde zisobola okuyamba okuyimiriza ekirwadde kya Bovine virus diarrhea okuva kukukebera n’okwawula era n’okugaana ensolo enddwade wamu nenamu.