Ebiwuka ebinyuunyunsi bigabanyizibwamu ebibinja bibiri: Eby‘ebweru n‘ebyomunda. Eby‘ebweru bibeera wabweru wa mubiri gw‘ekinyuunyuntibwa. Ekinyuunyuntibwa y‘ensolo oba omuntu ebinyuunyunta kwe bibeera.
Ebiwuka ebinyuunyunta eby‘omunda bibeera munda mu mubiri gw‘ensolo era tebisobola kulabibwa. Bisobola okuzuulibwa ku bubonero bwe bireeta ku nsolo. Ebiwuka ebinyuunyunta eby‘omunda bibeera munda mu mubiri gw‘ensolo
Enjoka
Coccidia bwe buwuka obunyuunyunsi obutono obubeera mu butoffaali bw‘ebyenda by‘embizzi obubireetera obutafuna mmere.
Enjoka zigabanyizibwamu ebika omuli (roundworms, enfaana, hookworms and lungworms). Enjoka za roundworms zifunibwa okuyita mu mmere eyonoonese n‘amazzi mu ngeri ya magi oba envunyu (larvae). Embizzi zongera okulya naye okulya kutono ekizireetera okukula obubi.
Enjoka za lungworms zikosa amawuggwe ne kireetera embizzi okukolola buli kadde.
Enfaana (Tapeworms)
Omubiri gw‘enfaana gulina ennyingo nga ez‘olugalo lw‘omuntu. Buli nnyingo yeesalako gy‘ekoma okukula.
Enfaana zinywa omusaayi gw‘embizzi ne kizinafuya. Embizzi bwe zirumbibwa enfaana tezikula, obusobozi bwazo obw‘okulwanyisa obulwadde bukendeera era ne ziggwaamu omusaayi.
Omuntu asobola okusanga enfaana oba ebitundubyazo mu bubi bw‘embizzi.
Okuziyiza
Enjoka zisobola okusangibwa mu lubuto, mu byenda ne ssebusa. Kakasa nti emmere n‘amazzi tebyonoonese.
Kozesa empiira ezitambuza amazzi n‘ennywanto z‘amazzi embizzi kwe zinywera mu kifo ky‘ebinywero okuziyiza embizzi okulinnya mu mazzi. Mu mbeera ng‘omuntu talina busobozi bwa mpiira ezitambuza amazzi, kozesa ebinywero n‘ebiriirwamu ebitono.
Laba omusawo w‘ebisolo mu myezi ebiri ku esatu zisobole okuweebwa eddagala eritta ebiwuka buli kadde. Ebiwuka ebinyuunyunsi eby‘omunda bisangibwa nnyo mu myezi ebiri ku esatu oluvannyuma lw‘okuggya embizzi ento ku mabeere.