Senyiga ayitibwa avian influenza akw’ata nnyo era akosa amawugwe, ebyenda wamu n’emisuwa ekiretawo okufiirizibwa muby’ensimbi.
Akawuka akasirikitu akaleeta senyiga ono kategeera mangu eddagala erisinga. Akawuka kano akasirikitu kagwaamu amaanyi oluvanyuma lweddakiika 15 ku diguli 56 era nekasaanawo muddakiika 1 ku digulu 100. Senyiga wa avian influenza ono okw’ata enkoko, ebaata, embaata kabuzi wamu n’ebika by’ebinyonyi bingi eby naye eby’omumazzi bigumira senyiga ono owa avian influenza. Ebanga obulwadde lwebutwaala okw’eraga likyuukakyuuka okuva ku saawa entono tono okutuuka ku nnaku okusinziira kumaanyi g’akawuka, era ne ddagala ly’akawuka, ekitundu ekikw’atiddwa wamu n’obukulu bw’ekinyonyi.
Ebikw’ata kukilwadde
Embaata kabuzi wamu nembaata ezikuumibwa awaka terekero lya senyiga wa avian influenza ery’obutonde era nga zitereka akawuka kano akasirikitu mu byenda by’azo era nezikafulumiza mu kalimbwe. Obuwuka obusirikitu buno busasaana eri ebinyonyi okuyita mukubusika okuyita munyindo z’abyo era n’okukwatagana nekalimbwe okuva mu binyonyi ebirwadde. Emere eyononese, amazzi g’okunywa, ebikozesebwa, ebiriiro, tule z’amagi n’abantu abatambuza akawuka kungoye z’abwe n’engato esobola okubeera engeri endala ey’okutambuzaamu obulwadde.
Obubonero n’entagira
Obubonero bwekisawo mulimu okuzimba kw’omutwe n’obulago, ekisunsu n’ekirevu biyinza okuzimba era nebifuuka bululu kulwebula ly’omukka omulamya(oxygen), obubonero obukw’atagana kukussa nga okukolola, okunyiza, okuvaamu eminyira, okuddukana, obubonero obukwata ku bwongo nga okukyaama kw’ensingo n’okugwaamu amaanyi, okuzimba wansi w’obukoowekoowe kumaaso nga muvaamu amazzi, okupeeruuka kubitundu awatali by’oya kulususu okusingiraddala ku magulu okubeera langi emyuukirivu etabuddwaamu langi ya bululu. Munkoko ez’amagi, ebinyonyi ebirwadde biyinza okusooka okubiika amagi agagonda ekikuta oluvanyuma nezirekeraawo.
Tewaliiyo bujanjabi eri ebinyonyi ebirwadde wabula tusobola okukuuma amalundiro gaffe nga nga tweyambisa enkola eziz’anide mukw’erinda ebirwadde, okw’ewala okusemberera ebinyonyi bw’omubanga, kubuli luvanyuma lw’amwetoloolo jamu obukuta obukyafu era ofuyire enyumba y’enkoko wamu n’ebikozesebwa byonna, gema obukoko senyiga ayitibwa avian influenza.