»Obulunzi bw‘embizzi ekitundu 2«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=cK-fDILDuAA

Ebbanga: 

00:08:09

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

royaldreamtv
»Kano akatambi kakawanjula eri ebiskorwako mu kulabirila embizzi, Kakoona ku ndabirira y‘ekiyumba, endiisa, obukumi obwobutonde, n‘endabirira enungi. Ebisumuluzo byokufuna mu kulunda embizzi«

Okulunda embizzi mulimu ogufinira ddala bwoba nga olabiridde mu butuufu bwazo era notekawo emintedera gyokwewala,u endwadde obulungi nga gikolebwa.

Bwoba otandika faamu kakasa nti emere gyowa ensolo erimu ebiriisa byona ebyetagiisa katugambe palm kernel cake, kasooli, muwogo, ebikuta bya muwogo, muwogo omufumbe, obukutta bw‘omuceere ne mpeke enkutufukutufu wabula osobola okusiimba ebirime ebyokukolangamu emmere okukendeeza ku sente zotekamu ate era nolubirirala okugaziya ku byolunda okunyumirwa enkyukakyuaka singa ebyenfuna bikyukamu.

Emitendera gy‘okulabirira

Tekawo ekiyumba ekituufu nga kiyingiza empewo okozese nobuwuuka obutono obuyamba okugoba ekivundu n‘ensowera mu nyumba y‘embizzi. Era webuuze ku bakugu b‘embizzi ofune amagezi agasokerwako okugeza ku bika by‘embizzi, sente z‘emmere, entabula y‘emmere, enzijjanjaba wamu nebyolina okukola okufuna amagoba amangi.

Okweyongerayo, kola entekateka yo eyokutunda, pulani kubyobutale n‘emiwendo osobole okutuusa embizzi zo okuzitunda nga zizitowa nga bwekyetagisa mu katale

Okwongerako, zimba ebiyumba nga obyawula okusinzira ku mutendera embizzi mwezigwa okusobola okuzirabirila obulungi ate nokwewala obuko/okwezaalamu ate era noonya ekika ekirungi nga kirina obubonero obwagalibwa. Okwongera ku kino, embizzi zirise emmere nga erimu ebirungo byonna mu bigero ebituufu okusobola okuziwa ebiriisa ebizikuzza amangu.

Ate era kozesa ebippimo ebituufu nga oatabula emmere okwewala okusasanya enyo nga webuuza ku bakugu muby‘embizzi era ononyereze, mu ngeru yemu kuuma omutindo n‘obuyonjo nga okozesa obutonde wewale endwadde kikuyambe okukekereza ku sente z‘eddagala.

Zimba emikutu egitwaala amazzi emirungi okulaba nga obussa n‘omusulo bitambuala burungi, kozesa obukuta kubanga buyamba embizzi okusigala nga namu. Nekisembayo, kikulu nnyo okutendeka abakozi, funayo omukugu webisolo okusobola okudukanya faamu nga ogifunamu.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:40Kola ekiyumba ekituufu era okole obuwuuka obutono
01:4102:21Webuuze ku bakugu mu mbizzi ku magezi era okole entekateka y‘okutunda
02:2203:18Buli kika kya mbizzi kizimbire ekiyumba kyazoo okuazawula
03:1904:26Wewale okwezaalamu ate onoonye ezo ezolulyo olulungi
04:2704:56Kakasa nti ensolo osiriisa emere eyomutindo nga erimu ebirungo byona
04:5705:25Kozesa ebipimo ebituufu nga oatabula emmere, simba yo ebirime ebikuyamba mu ktabula emmere.
05:2606:44Kuma omutindo era nembeera enamu era okakase obukumi bw‘obutonde
06:4506:55Zimba emikutu emirungi egifulumya ebikyaafu era okozese obukutta
06:5607:45Somesa abakozi, kozesa abasawo bebisolo teketeka engeri gyogenda okunoonaya obutale n‘okutunda era oyongere kubyolunda.
07:4608:09Okwebaza

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *