Okulunda embaata kumanyiddwa nnyo era kya byanfuna ekireetera ddala ensimbi eziwerako. Waliwo endyo ez‘enjawulo ez‘embaata z‘ennyama n‘ez‘amagi okwetooloola ensi yonna.
Embaata zonna eziriwo kati ezirundwa awaka zaava mu binyonyi ebyomunsiko. Ebinyonyi byomunsiko ebyo bibungeeta ensi yonna era ebimu ku binyonyi ebyo bifuuliddwa bya waka era biriibwa. Enkumi n‘enkumi z‘embaata zisobola okulundibwa awatali mazzi nga ozirundira munda mu biyumba mu ngeri yeemu gy‘olundamu enkoko. Bw‘oba olunze embaata nga tewali mazzi, embaata zo zijja kubiika amagi agataliiko mpanga. Tosobola kwaluza magi ago okufuna obubaata obuto. Embaata empanga za nkizo nnyo mu kuzaaza oba okulinnyira enkazi.
Endabirira
Embaata zisobola okulundibwa nga nnyingi ddala era nga za kufunamu ssente oba okulunda entonotono okuziryako ennyama n‘okuzifunako amagi. Embaata zeetaaga ebiyumba ebitali bya bbeeyi nnyo era ebitaliimu bukodyo bungi mu kubiteekawo noolwekyo kyetaagisa ssente ntonotono okutandika obulunzi bw‘embaata obw‘okukola amagoba. Embaata binyonyi ebigumira embeera enzibu era byetaaga endabirira ntonotono.
Embaata zisobola okumanyiira kyenkana embeera yonna ereetebwa ebyo ebizeetoolodde. Zibiika amagi ekiro oba ku makya. Mu kugeraageranya weetaaga ekifo ekitali kigazi nnyo okulunda embaata.
Ebirungi ku mbaata
Mu kugeraageranya, embaata zirina ekiseera kitono mwe zikulira era obubaata obuto bukula manguko. Tezimala galumbibwa ndwadde za binyonyi eza bulijjo ezimanyiddwa. osobola okuliisa embaata zo ebika by‘emmere ebiwerako omuli; muwogo, kasooli, omuceere, ebibala, n‘emmere yonna endala eteetaaga ssente nnyingi era efunika amangu.
Zirina n‘omuze gw‘okulya omuddo ogukula mu mazzi, enkonge, ebimera ebya kiragala ebyongera ekirungi kya nitrogen mu ttaka, ensiringanyi, n‘ebiwuka eby‘enjawulo ekintu ekikendeeza ku nsaasaanya mu kugula emmere. Embaata zifa kitono era zibiika amagi okumala ebbanga eddene.
Emiganyulo emirala
Ebiva mu mbaata okugeza ennyama n‘amagi birima akatale ka maanyi mu ggwanga wamu ne mu mawanga amalala noolwekyo kintu kya maanyi mu kuleeta ssente era zisobola okuvaamu emirimu egiweebwa abantu.
Embaata ekika kya Indian runner lulyo lwa mbaata ez‘amagi olumanyiddwa ennyo olw‘obusobozi bwalwo mu kubiika amagi. Waliwo endyo za mirundi esatu mu mbaata ekika kya Indian runner. Mu ndyo ezo, embaata enjeru n‘eza kikuusikuusi nnungi nnyo. Waliwo n‘embaata ekika kya khaki campbell nalwo lulyo olumanyiddwa mu kubiika amagi amangi.