Essunsa zezimu ku nva endirwa ezisinga okulibwa era nga lifumbibwa ku nva ez‘enjawulo. Lyangu okulima n‘okulabirira engeri gyelikulira mu ttaka elyenjawulo ate nga liyayanirwa nnyo.
Ekimera kino kosebwa ebotonde ebyenjawulo nga amayanzi, beetles, bugs wamu n‘endwadde nga white leaf spot ne mosaic. Ekimera kino kimerera mu wiiki 2era kikulira mu mwezi 1, oyinza okulinoga ku wiiki 2 engeri gyerikula amngu.
Enkuza yalyo
Tandika nga ofuna awali ettaka eryolunnyo (pH) olwekigero nga watuuka omusana ogumala okusobola okukula obulungi., olwo otekemu ekigimusa ekyobutonde wiiki 2 nga tonasimba era NPK 15:15:15 nga wayise omwezi 1 nga ensigo zimeze.
Ensigo bwoba ogigye mu biryo ebiba mu nsujju, byooze era obikazze okumala enaku 7 okukendeeza oluzzi olubaamu nokusobal okumera amagu.
Era bwoba osimba, ensigo zisimbe nga awasongovu watunudde mu ttaka era ofukirire buli lunaku okumala wiiki 2 okuziyamba okumera, okwongerako koola buli luvanyuma lwa wiiki 2 okukendeeza omuddo ogulwanira amazzi n‘ebirungo.
Okwongerako, nga zimaze okumera, simba oluti oluwanvu 1-2m okumpi nebikolo okuzirandizaako, okuliyamba okukula amagu wamu nokukendeeza ku bulwadde.
Mukusembayo, ebimera bisalire oba ogyeko ebikoola 8-10 nga ova waggulu ku wiiki 3 nga limaze okumera okwongera ku makungula era okulinoga kutandikibwa wayise omwezi 1 oba 2.