Nga enva endiirwa, omutindo n’obungi bw’emboga busalibwaawo ekika n’ekigero kya tekinologiya akozesedwa mukulima.
Kulw’okubeera ekimu kubisinga okubeera n’ekiriisa wamu ne vitamina A, okukeera okulima emboga ky’ongera kubw’etaavu bw’azo era nezibeera nga zifuna nnyo singa obeera ozirabiride bulungi. Zisobola okulimibwa kubika by’ettaka ebisinga naddala ettaka eriddugavu wamu nely’ekiwuga nkofu.
Ennima y’emboga
Mukulima, endokwa zimerusibwa mu merezo olwo nezisimbibwa mu nimiro ku mabanga ga mita ku mita 2 (WxL) eriteekebwateekebwa nga otabula ettaka ly’olusenyu, eriddugavu wamu n’ebigimusa ebikoledwa mubintu eby’obutyonde. Tabula ebigimusa bulungi mu merezo ennaku 7-8 nga tonaba kusiga era oluvanyuma oteekemu ekigimusa kya urea nga endokwa zimera kulw’okukula obulungi.
Mungeri y’emu, endokwa zisimbibwa mu merezo ennaku 30-35 oluvanyuma lw’okusiga n’olweekyo teekateeka enimiro nga okabala emirundi 4-5 olwo omansemanse ebigimusa kyenkanyi kuttaka kulukabala olusembayo ebitabulwaamu ettaka. Emerezo ezituukiride ziyina okubeera nga ziri mita 1 mubusimba ne cm 15-20 mubukiika okuva wansi.
Oluvanyuma lw’ennaku 30-35 ez’endokwa mu merezo, zisimbe mu nimiro enkulu akawungeezi kumabanga ga cm 60-45 era otekemu ebigimusa. Gattamu ebigimusa bya urea bya kilo 200-350, TSP bya kilo 200-250 n’obusa bwa kilo 5000 -10000. Ebigimusa byonna bimansibwa mu nimiro kyenkanyi kulukabala olusembayo era nebitabulwa ne ttakaka.
Mukugattako, ebigimusa biteekebwaamu mu mitendera 3 omuli ku nnaku 0 oluvanyuma lw’okusimba, ku nnaku 25 era nemukiseera nga emboga esibye. Ettaka liyina okufukirirwa mangu ddala nga ebigimusa bimaze okuteekebwaamu era n’oluvanyuma lw’ennaku 2-3.
Ekisembayo, fuuyira neddagala eritta ebitonde eby’onoona ebirime okiutangira enddwade era okunkule emboga wakati we nnaku 60-90 oluvanyuma lw’okusimba.