»Obulimi bwa cocoa – okukungula cocoa«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=FbcIivtDFzA&list=RDCMUCRnt3WDhjHT30Xs5h9w3gqg&index=10

Ebbanga: 

00:11:21

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Discover Agriculture
»Cocoa kigambo kya luspanyola era alimibwa olw‘ensigo ze omuva butto n‘ebyo ebisigala wo ng‘okukamula butto kuwedde.Okusingira ddala cocoa akolwa mu chocolate ,pawuda n‘omuzigo,era nga omuzigo gunno (cocoa butter) gukozesebwa nnyo mu makolero agakola eby‘okwekola ko.«

Cocoa alimibwa kufuna mu nsigo zinno bazikenenula mu butto ,n‘okufuna ebyo ebisigalira ng‘okukamula kuwedde.Ensigo za cocoa bazikola mu eky‘okulya kya chocolate ne pawuda n‘omuziggo.Cocoa akozesebwa nnyo mu kolero ly‘ebyokwekolako.

Ebimu ku bika by‘ensigo za cocoa mulimu;ekika ekiyitibwa criollo,Forastero ne trinitano. Ekika kya Forasteno kikula bulungi mu buyindi ewali embeera eyetaagisa mu kulima cocoa.Cocoa kirime ekikulira okusuka mu mwaka era alimibwa ku buwanvu bwa kipimo kya 1150m okuva wansi era ng‘ekifo kittonnyebwa mu enkuba eri ku kipimo kya 1000mm ku 2000mm.Cocoa asobola okulimibwa ku ttaka ery‘ebika ebyenjaawulo,wabula ayagala nnyo ettaka erya kiwuga nkoffu eririmu amazzi agamala nga e kipimo ky‘omunnyo kirii ku 6.7 okutuusa ku 7.Ettaka erisobola okukuuma amazzi ddungi nnyo mu kukuza cocoa n‘ofuna mu amakungula agawera.

Entekateeka y‘ettaka.

Ettaka likabale emirundi 3 ku 4 okutuusa nga liwedde mu amafunfugu olwo liba lisobola okuyingiza amazzi mu bwangu.Woba nga ogenda kulima cocoa awannene ,okubirizibwa osooke okebere ettaka kwogenda okusimba.Ettaka liteeke mu ebirungo ng‘okusinzira ku bifuniddwa mu ku kebera.

Cocoa asimbibwa na nsigo,ng‘okozesa endokwa z‘ottemye,okusimba ng‘ogatta endokwa bbiri.Mu kusimba ensigo,ensigo zirinna okuteekebwa ko eddagala nga okozesa evvu oba lime.Ensigo zisimbe mu kaveera oba mu mmerusizo eziwannikiddwa era nga zituukibwa ko ekisikirize ekimala.Cocoa ayagala nnyo ekisiikirize n‘olwekyo osobola okwekolera ekisiikirize w‘osimbye ku mutendera gw‘okusimba oba mu kiseera nga akula.

.Cocoa ammeruse atwalibwa mu nnimiro enkulu nga ali ku buwanvu bwa 60cm era asalibwa ku buwanvu bwa 3-4cm n‘ekikoola kimu oba bibiri.

Okusimba n‘okukabala.

Londa ensigo ennamu okuvva mu biffo ebyakirizibwa okutunda endokwa nga binno bimazze emyezi enna kw‘ettaano ekitono ennyo.Cocoa ono alina okumufukirira asobole okukula obulungi n‘okufuna mu amakungula agawera.Kuuma obuweweevu bw‘ennimiro kubanga cocoa akosebwa nnyo ekyeya.

Ebigimusa ebikoleddwa mu butonde biyamba nnyo ekirime kya cocoa.Era buli kirime kya cocoa kyetaaga kilo 8 ku 10 ez‘ebigimusa ebikoleddwa ku bisigalira ku faamu.Kola okukabala okusooka nga wakamala okukungula okukulu era oddamu okukabala ogw‘okubiri ku kolebwa nga wayiseewo emyezi mukaaga nga okukabala okusooka kuwedde.Ekirime kirekere amatabi magere nga anna kw‘attaano(4-5) okukisobozesa okufuna ekitangaala ekisinga.

Okukungula

Cocoa atandika okumulisa mu mwaka ogw‘okusattu gw‘omusimbidde mu era afunwa mu mu mwaka ogw‘okuttaano.Ekikalapwa kya cocoa kitwala emyezi 5 ku 6 ng‘ebikalapwa ebya kiragala bifuuse bya kyenvu.Ebikalapwa bikubibwa awakaluba nebisobola okwegula oluvannyuma mukaatuuse era okazze ensigo.

Buuza abantu ku katale ka cocoa munsi yo,mu makolero agakola ebintu ebirala mu mmere oba mu makolero agakola eby‘okwekola ko okusobola okufuna akatale .

Ebitonde ebyonoona ebirime bya cocoa mulimu ekiwuka kya bug,ebisaanyi,amayanzi,ensiri n‘obuyitibwa stem girdlers.Obulwadde mulimu obwa kiwotokwa,obuyitibwa seedling blight,witches broom n‘obuyitibwa stem canker.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:30Cocoa alimibwa kufuna mu nsigo zinno bazikenenula mu butto ,n‘okufuna ebyo ebisigalira ng‘okukamula kuwedde.
01:3102:54Ebika bya cocoa ebyenjawulo n‘embeera y‘obudde eyetaagibwa mu kulima cocoa.
02:5503:43Ebyetaago by‘ettaka,enteekateeka y‘ettaka okulimibwa cocoa.
03:4404:55Engeri y‘okusimba cocoa.
04:5606:27Okusimba cocoa n‘ensigo awamu n‘okuttema.Okulonda ebiikozesebwa mu kulima cocoa
06:2807:06Okufukirira ennimiro za cocoa.
07:0708:34Ebigimusa ebiteekebwa mu nnimiro ya cocoa.Okukabala ennimiro okusimbibwa
08:3509:50Ebitonde ebyonoona ebirime bya coco n‘obulwadde.Okukungula cocoa
09:5110:55Oluvaannyuma lw‘okukungula okufuna akatale k‘ensigo za cocoa
10:5611:21Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *