Obulunzi bw’enkoko kugenda kukula ku misinde egisanyusa naye mulimu ebisomooza byolina okutunulirwa.
Ebbeeyi y’okuliisa enkoko y’emu ku bisomoza ebiri mu kulunda enkoko era erina okuba nga ekola bulungi okusobola okufuna mu bikozesebwa ebitono. Abalunzi b’enkoko z’enyama bazirundira ekiseera kitono wakati w’enaku 32 ku 60 nolwekyo okukuza enkoko z’enyama kitwala wakati wa wiiki 4 ku 8.
Okwetekeratekera okulunda enkoko z’enyama
Nga tonatandika ku lunda nkoko z’anyama, omuntu alina okwetegeka okuberawo, okugumira empulira wamu n’okutegeka sente kwegamba ekiyumba ky’enkoko kirina okuba ng kitegekebwa bulungi nga kiyonjo nga kifuyidwa nga okozesa eddagala eritta obuwuka etuufu. Era kakasa nti ebinywerwamu n’ebirisibwamu wamu n’emwezifunira ebbugumu obitegese.
Ku ngeri gyowulira, olina okwetegeka kubanga bwoba toli mwetegefu oyinza okuzitowererwa obuzito bw’okulabirira obukoko obuto kumpi esaawa 24 buli lunaku nga olunda.
Mu byensimbi, kakasa nti olina sente ezimala okugula emere, eddagala wamu n’okugema okuyita mu kulunda kwona. Lunda enkoko ku busozi bwo webukoma.
Beera n’abantu bo abakugu okugeza abasawo b’ebisolo boyinza okufunamu okuwabulibwa
Tandika nga omanyi ekigendererwa kwegamba tandika na kunonyereza ku katale era oleete obungi obusobola okumalibwa bwekitaba ekyo osobola okukolerera okufirwa.