Omutendera n‘ekika kya tekinologiya kikosa obungi n‘omutindo gwebivaamu mu kiseera ekigere ku faamu.
Engeri gyeri enkola ekozesebwa ennyo mu kuwakisa ente, enkola eyokukuba omukono yetaaga obukugu obusaniide nga omala enaku satu nga ogezaamu nga olagirirwa omukugu. Okugatako obukugu n‘obuvumu bijja nakugezesa gwe kenyini.
Enkozesa ya tekinologiya
Omutendera ogusooka kwe kusiba ensolo egenda okuwakisibwa mu kakuubo akafunda nga kino okikola nga ogenda kuteeka amazzi g‘ensolo ensajja (semen) mu kamundu era oziyize ensolo endala okukyankalanya emitendera. Kozesa omukono ogwa kono okutaganjula obukyala, ate ogwa ddyo okutambuza akamundu era wewale okukanga ensolo nga ogenda okugiwakisa.
Weyongereyo nga owanika omukira nga okozesa omukono ogwa ddyo nga bwonyiganyiga awafulunmira obukyafu nga oyambadde giraavu (gloves) nga okozesa omukono ogwa kono olwo webase omukira ku luuyi lwomukono, olwo ogatte engalo nga nsongoyirivu oyingize omukono awafulumira obukyafu oziwanike nga bwonyoola. Mpolampola sangula obukyala nga okozesa olupapula olugonvu okugyako obusa era nga okozesa omukono ogwa kono, funya ekikonde okinyige ku bukyala ku ngulu.
Okugattako, gya akamundu mwekaterekwa era okayingize mu bukyala nga okatunuuza waggulu ku diguli 30. Nga kayingidde yinki 6 ku 8 mu nda, kasereze paka nga kakoonye ku mumwa gwa nabaana. Okuwakisa okutukiridde manya nga akasongezo lka kamundu wekatuuse nga okozesa omukono okunyiganyiga. Sangula obussa bwona okwewala okuwundiisibwa nga okwatakwata era omukono ogukuume nga mwanjuluze nga okute wansi awafulumira obukyafu. Kakanya omumwa gwa nabaana nga okozesa engalo bbiri okunyiganyiga maso nemabega.
Noonya omumwa gwa nabaana, ogugolole nga okozesa ekibatu era ogyemu ebizizi olwo oyingizemu akamundu era oddemu okole bwotyo. Kwata ebweriu w‘omumwa gwa nabaana nga okozesa ekigalo ekisajja onyige ku ngulu engalo endala oziteeke wansi okuzibukira ekubo ku ngulu n‘ewansi olwo onoonye akasongezo k‘akamundu okugula omumwa gwa nabaana nga oweta n‘okunyoola omumwa gwa nabaana. Bwoba nga oyise ku mitendera gyona, kyusa omukono omusabike paka nga gwebase ku ngulu ku mumwa gwa nabaana olwo owanike engalo era mpola oyiwe amazzi (semen). Ddamu okebere woyiye olwo olyoke oyiwe agasigaddemu.
Sindika akamundu mpolampola okuyiwa amazzi (semen) munda mu nabaana era bwomala , osikeyo mpola akamundu mu bukyala. Nga kiwedde kebera ku kas0ngezo ka kamundu oba kuliko obubonero bw‘omusayi, obulwadde oba semen ayiise mu kilawuli owandike byolabye nga osinzira ku musayo olwo ekilawuli okigye ku ka mundu okikwatire mu mukono okuli giraavu (gloves). Gyako giravu nga ova waggulu ku mukono, ogyemu empewo, ogisibe oluyi okuli ekituli era ogikasukeyo.Akamundu kalongose okazeeyo mu terekero.