Obwana bw‘embuzi bwa mugaso nnyo mu mulimu gw‘embuzi noolwekyo bulina okulabirirwa obulungi okusobola okukendeeza ku nfa yaabyo nga buto
Obwana nga buzaaliddwa mu budde bwe kyeya, endwadde bulumbibwa ntono nnyo naye ekizibu ekisinga okubukosa z‘enkukunyi. Osobola okutakula olususu lw‘ensolo okulaba oba bulina enkukunyi ekireetera ensolo okubulwa emirembe, mpozzi n‘okumira obwoya buli we zetakula kyokka ate nga obwoyo ssebusa tabukuba kumulunguka ekibuleetera okwetuuma nebukola engeri ya kapiira akatali ka bulijjo mu mubiri gw‘embuzi
Engeri y‘okuzuulamu obwana bw‘embuzi obulwadde
Okuzuula nti obwana bw‘embuzi bulina ekikyamu olina okubwekebejja n‘okubwetegereza ennyo. Twala obudde era weetegereze obwana bulungi kubanga kiba kyangu nnyo okuzuula obulwadde.
Obwana bw‘embuzi okubeera n‘olususu olutawewera kabonero akalaga nti bulina ekikyamu.
Engeri y‘okulabiriramu obwana bw‘embuzi
Yala omuddo ogukaze wansi mu kayumba k‘embuzi okusobola okukuuma wansi nga wakalu bulungi. Kino kiyamba okuziyiza obuwuka obusirikitu obuleeta endwadde kuba tebuwangaalira mu bifo bikalu.
Singa obwana bw‘embuzi bulumbibwa enkukunyi, fuuyira n‘eddagala eritta ebiwuka nga eddagala lya larva wansi mu kiyumba ky‘embuzi nga tezirimu era nabwo obufuuyire ne ssabuuni oba obumansireko eddagala ly‘obuwunga eriyitibwa dudu dust enfunda eziwera okumala wiiki 2 olwo tojja kuddamu kulaba ku nkukunyi.
Kakasa nti ofuuyira obwana bw‘embuzi, buleke buyonke era kebeera bulijjo ku bulamu bwazo