Ennume zesigamwako nnyo ku lulyo okusinga enkazi.
Ennume zesigamwako nnyo kubanga zisobola okugaba obutofaali bw‘obutonde mubisolo okugeza ennume emu esobola okuwakisa enkazi 50 mu myezi essatu gyokka. Bwetuba tulonda ennume y‘okuwakisa, erina okuba ennungi kubanga singa si nnungi, awo esobola okuleeta olulyo olubi mu ggana lyo.
Maleeto/ ezitali ntabike
Ennume okubeera enjeru tekitegeeza nti maleeto oba musaayi mutabike. Ennansi zirina obusoboozi okuba nekala yonna.
Maleeto zagalibwa nnyo kuba zikula nnyo. Okuwakisa ennansi netali ntabike kiyamba okutambuza obutafaali bw‘obutonde ku bwana. Ennansi zitwala akaseeraokuweza kilo 70 era kwezikoma wabula ezitali ntabike zitwala akaseera bitono okuweza kilo 70 ate nezigejja paka ku kilo 120.
Ezitali ntabike zirina ennyindo ensongovu n‘amayembe gaazo geweta gatunuliganye. Amatu gaazo manene ate matangavu okuvira ddala wansi, gagwa ate mawavu okuvira ddala ku mba zaazo.
OKuzaaza ennume
Obunene bw‘ennume tezikifula nnungi mu kuwakisa. Ennume ewakisa erina okuba n‘ekisawo ky‘enkwaso emabega w‘okugulu kwemabega. Ensingo zirina okufaanagana ate tezirina kuwanvuwa nnyo.
Ennume eziwakisa zirina okuba n‘omukira omugolokofu nga gulina langi emu efaanagana. kino kiyamba okutegera ekika kyayo.