N‘ente ekyasinze okuvaamu amata tesobola kuvaamu nga bwesubirwa nga ndwadde nolwekyo okuzikuuma nga namu kikulu okusobola okuzivunamu.
Ente enamu ebeera n‘ebbugumu lya diguli 38 ku 39, amawugwe amalamu, nga essa blungi wamu n‘omutima ogukuba obulungi. Ensolo enamu erina okuba neddiba nga liserera, elya bulungi wamu nokunywa amazzi obulungi nga efuluma nga bwekyetagiisa, omusulo nga gulina langi entuufu era nga ebeera nezine wazo ssi kweyawula.
Obubonero bw‘obulwadde
Ensolo endwadde ziba tezagal kulya okugeza ensolo terira ddala oba okunywa era nga olwooya lusituse ku ddiba.
Okukendeza amata okugeza amata agakamibwa gakendera, ebeera yoka era bweba etambula nendala, endwadde esigalira emabega.
Sick animals also have a dry muzzle and in most cases have issues with their digestive system which causes diarrhoea or constipation.
Ensolo endwadde era ziba nemimwa emikali nga ebiseera ebisinga ziba nobuzibu mu kulya ekivaako okuddukana oba olubuto okwesiba. Okukolola singa obulwadde bukwatta amawugwe era nokussa obubi.
Okukebera ente endwadde
Bwolaba nga ensolo ndwadde, webuuze ku byafaayo byaayo ebyobulwadde okugeza ddi lweyatandika era yamala bbanga kki n‘obulwadde. Gyekebejje yona, wesula, omutima namawugwe.
Nga omaze okwekebejja, kola okukebera okwenjawulo nga owandiika olukalala lwebyo byona ebiyinza okuba nga kwekuva embeera gyolaba bwobadde okola okukebera okwawamu. Nga omazze kino, kola okukebera okwesira nga kati osazaamu endwadde paka lwosigala n‘endwadde bumu obuluma ente olwo n‘obujjanjaba.
Bwoba tewekakasa bulwadde kki, webuuze ku musawo webisolo.