Avocado kibara eri abakirya ela kyabyanfuma wabula, ekitundu ekineene ku kya kyanoneka munkyata embi nga kimazze okungulwa kubanga abalimi abasinga balina obumanyiivu butono oba obutaba na bu,anyirivu wadde kungeri y‘okunogamu avocado.
Okuyiga mu engeri entufu eyokunoga mu avocado, kikendeza okwononeka nga akunguddwa ela ne kunfuna y‘abalimi.Ebyetagisa mukisela nga onoga mulimu, obusala, ekisawo ne gilavuzi. Bino bitangila ekibala obutakosebwa nga kinogwa.
Enoga ya avocado
Kwata ela osaale ekibala nga olekako akakwata ka 1mm okuwongela obuwangazi bwekibala nga kitelekeddwa.
Teeka ekibala mu nsawo eyebikunguddwa ela bwejula bijemu obiteke mukiselo/kuleti. Wabula kino kirina okuba nga tekitekeddwa mu ttaka okukuma obuyonjo n‘omutindo.
Piima obuziito bwa‘makungula okusoboola okumanya omuwendo ogukunguddwa okuva mu nimiiro.
Teka kuleti tano tano wamu nga eyawansi nkalu wabula kuleti ez‘okungulatezirina kweyambisibwa mukutunda avocado.
Tojjuza nnyo kuleti, tereeka avocado akunguddwa mukisikirizze okwewala avocado ali kungulu okwokyebwa omusaana.
Mubwangu twala avocado mu terekelo okuziyiza okwononeka oluvanyuma lw‘amakungula.