Okusalira kwe kujjako enduli oba amatabi agakuze ku kimera ng’ottema ng’eno y’engeri y’okuza omutti gwa ovacado obujja.
Okusalira kwa mugaso nnyo kubanga kuyamba omuti okudamu okukula ,era kuyamba okuziyiza omutti okuwanvuwa ennyo kubanga weguwanvuwa ennyo,ebibala bisobola okukosebwa mu kiseera eky’okukungula ate era kuzibuwaza okuziyiza ebitonde ebyonoona ebirime n’obulwadde.
Emigaso emirala
Obulungi bw’okusalira bulabikira wo ku makungula n’omutindo.Kwongera ku makungula kubanga kuyamba ku kwoleka omuti eri ekitangaala ekiva ku musana ate era omutti gwa ovacado gumulisa bulungi n’okubazza ebibala singa ekitangaala ekiva ku musana kiba kigutuukako bulungi.
Omutindo gw’ebibala gulongosebwa olw’okuba nti ekirime kiba kisobola okufuna ekitangaala n’entambula y’empewo ennungi kino kikendeza ku ndwadde ezonooza ebirime.(fungal diseases)
Wommala okusalira,ebisigalira biba bingi era binno osobola okubikozesa okubika ettaka mu nnimiro.Binno bivvunda era nebivaamu ebiriisa ebiteekebwa mu ttaka.