Okusalira kwe kuggyako ebitundu ebimu eby‘emiti okusobola okwongera ku bulamu bwagwo n‘obungi bw‘ebibala.
Okusalira kuleeta emiti emitono era emimpi nga girina obutangaavu wabula emiti egitali misalire giba ne mita mukaaga mu buwanvu era n‘emiti giba gisakaatidde.
Enjawulo wakati w‘emiti emisalire n‘egitali misalire
Okusalira kusobozesa omulimi okubeera n‘emiti emingi ku faamu okusinga ku gitasaliddwa. Emiti egitasaliddwa gisimbibwa mu mabanga ga mita kkumi ku kkumi ekireetera ennimiro okubeera n‘emiti emitono okusinga ku miti emisalire egisimbiddwa mu mabanga ga mita ttaano ku ttaano.
Emiti egitali misalire gikwatibwa endwadde nnyingi okugeza anthracnose kubanga obuziyivu bw‘emiti bulwawo okukala oluvannyuma lw‘enkuba ekitali ku miti emisalire egikala amangu oluvannyuma lw‘enkuba olwokuba zifuna bulungi empewo n‘ekitangaala.
Okulambula ennimiro y‘ebibala ky‘ekikolwa ekisooka okwewala obulungi endwadde. Kizibu okukolebwa obulungi mu miti egitasaliddwa ate nga kyangu ku miti emisalire.
Okufuuyira eddagala ly‘ebirime nakyo kya kulwanyisa kya makulu mu kulwanyisa endwadde. Kyangu okubikka obulungi emiti egisakaatidde ewatali kwonoona ddagala ku miti emisalire naye ku miti egitali misalire, okubikka emiti egisakaatidde gyonna kirabika nga ekitasoboka era mubeera mu okwonoona eddagala.
Ebimuli mu miti emisalire bikula mu kiseera kye kimu ng‘ennimi z‘emiti ziggibwamu oluvannyuma lw‘okukungula wabula mu miti egitali misalire, ebimuli bikula mu biseera eby‘enjawulo..
Emibala bingi bimera ku buli muti ogutali musalire wabula obunene bw‘emiyembe ku miti emisalire businga ku bw‘emiti egitali misalire. Ku buli yiika, emiti emisalire gireeta amagoba mangi okusinga ku gitali misalire.
Emiti emisalire girina amagoba mangi, gifunibwamu kingi era ne faamu esigala efuna nnyookumala ebbanga eddene era muvaamu ebibala ebiri ku mutindo nga byengedde bulungi kubanga biba byangu okukungula.