Lwaki tulimira mu mazzi ku lukalu lwa Afirika?

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://youtu.be/a-ccZY4P0UA?list=PLgZL2cFPMv1yvdvstIwNdK7Mdg6sPk7xu

Ebbanga: 

00:08:58

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

GRANDEUR AFRICA
Mu katambi kano akakwata ku ngeri y'okulimira mu mazzi tukulaga obulunzi bw'omu mazzi__ Engege ne ssemutundu awamu n'enkola y'okulimira kamulaali owa langi mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa n'enva endirwa ez'ebikoola nga obutungulu bw'ebikoola, kales, broccoli ne cauliflower ng'olimira mu mazzi.

Enkola y’okulimira mu mazzi egatta ebika by’okulima n’okulunda bibiri omuli; okulunda  eby’ennyanja n’okulima enva endirwa. Naye mu nkola y’okulimira mu mazzi tugatta obulunzi bw’ebyennyanja n’okulimira mu mazzi agatabiddwamu ebiriisa.

Mu nkola eno ey’okulima tulinamu enkola eyitibwa vertical tower ng’olima obutungulu bw’ebikoola, kales, broccoli ne cauliflower. Ku ludda olulala, tulina  ensaniya munaana ez’ebika bya kamulaali owa langi, ebimyufu bina n’ebyakyenvu bina. Mu bidiba by’eby’ennyanja bino tulundiramu engege ne  ssemutundu
Engeri okulimira mu mazzi gye kukolebwamu
Amazzi agava mu bidiba bya mazzi gawa ebimera ebiriisa nolw’ensonga eyo ebimera bibeerawo ku lw’ebirungo okuva mu by’ennyanja. 
Ekiriisa kya ammonia ekiba kiyitiridde okuva mu bubi bw’eky’ennyanja, emmere esuukiridde mu mazzi ekunganyizibwa ne neteekebwa mu nsaniya era wano ekimera kifuna ekigimusa n’ebiriisa byonna era amazzi bwegaba gaddawo mu kidiba ky’eby’ennyanja gaba mayonjo kuba emirandira gy’ebimera gigateekamu omukka omulamya.
Emigaso 
Okutereka amazzi  agonoonebwa mu bulunzi bw’eby’ennyanja; olina okukyusa amazzi ekitegeeza nti amaanyi getaagisa okukibeezaawo ekitali mu kulimira  mu mazzi.
Ekifo awava ensimbi okuva mu by’ennyanja n’ebirime. Okulimira mu mazzi kuggumira nnyo ekipimo ky’olunnyo. Ensaasaanya ku  biriisa; kya  layisi nnyo okulimira mu mazzi okusinga okulimira mu mazzi agatabuddwamu ebiriisa.

Okufundikira

Emyezi gibadde ena egy’okukola ennyo mu kuliisa obulungi, mu ndabirira y’endwadde n’ebiwuka ebyonoona ebimera.  Okuva okusimbuliza, okuyita mu mutendera gw’okukula okutuuka ku gw’okumulisa, okuteekako ebibala paka olwaleero mu kukungula ebibala byaffe ebisooka. Singa enkola y’okulimira mu mazzi eba ekoleddwa bulungi esobola okuyingiza nnyo ensimbi.
 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0101:30Okwanjula ku by'obulimi n'obulunzi ku faamu mu muluka gwe Muranga
01:3102:58Okulimira mu mazzi kye ki?
02:5904:16Engeri okulimira mu mazzi gye kukolebwamu
04:1705:27Emigaso gy'okulimira mu mazzi
05:2806:57Emigaso gy'okulimira mu mazzi
06:5807:38Emigaso gy'okulimira mu mazzi
07:3908:58Ekifunze ky'ebikolebwa okuva mu budde bw'okusimba okutuuka okukungula

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *