Bwokuuma ettaka nga linnyogovu osobola okusimba ekimera ekyokubiri nga kasooli ne ngano mubudde, osobola okulima n‘obukodyo ng‘okozesa enkola eyokubiri; okulima ngolekame amabanga (strip tillage) n‘ensimba y‘obilimiro (bed planting).
Bwokuumira munnimiro ebirime ngebisoolisooli. Yadde naga abalimi abamu bakabala ennimiro nga tebanasiga beerabira okulekamu ebisoolisooli. Ettaka nga toleseemu bisoolisooli likaddiwa era n‘erikala mangu.
Ekirime eky‘okubiri
Abalimi okuva e Bangladesh beeyambisa ebyuma okusiga amangu nga tebakabadde nnimiro. Mukino basobolera ddala okusimba ekirime ekituufu mubisera ebye‘ekyeya, basobola okukekereza abakozi, obudde, amazzi, n‘ensimbi.
Okulima ngolekamu amabanga
Bwoba olina ebika by‘ensigo z‘omuceere ez‘embala, osobolera ddala okusimba ekirime ekitandika n‘ekyeya nga bukyali. Osobola okutandika ne wiiki eddako ng‘osimba kasooli n‘engano nolwekyo kizibu okukabala ennimiro oluvannyuma lw‘okungula omuceere. Ekika kya tractor ekirina bbookisi ezenkizo n‘enkumbi ezisobola okusima ebinnya nga bwesuulamu ensigo ate nga bweziziika eno kwossa bwesasaanya ebigimusa.
Bwojjako enkumbi ezimu olaba nga egenda etema amavunike mu layini enfunda, ojja kulaba nti amavunike gasigala bbali. Ettaka erisigadde lisigala gumu nga sikabale olwo ekirime ekyokubiri n‘ekikula bulungi. Enkumbi ziyina okusalira omuceere sentimita 30 okuva kuttaka kisobozese ebisoolisooli okusigala nga bikuuma obunyogovu muttaka ebbanga eriwerako. Ennima y‘okulekamu amabanga ekekkereza amazzi, abakozi na mafuta olwo abakozesa enkola eno n‘ebafunamu.
Ennima y‘obulimiro
Enkola eno tulakita ekozesa enkumbi ezetoloola, oluvannyuma lw‘okulima n‘ezireka amabega ebituli ebiringa beedi. Enkola eno ekekkereza amazzi, abakozi n‘essente. Bwolimira ebirime mu beedi okekkereza amazzi ng‘ofukirira, era n‘ekitangira n‘e mmese okwonoona ebirime. Beedi zikiriza ekitangaala ky‘omusana okukka munnimiro, emesse kyezitayagala ate era okufukirira kugumya ettaka emmese n‘ezitasimasima nnimiro. Ekyuma ekisimbira mu beedi kisimba nga bwekiyiwa n‘ebigimusa nga bw‘ekiri ku ttulakitaekabala mu layini.