Enzijjanjaba ey’obutonde ey’enkoko

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=h9VMr8DYIO0

Ebbanga: 

00:10:20

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agribusiness Insider
Enkoko zo zaali zikwatiddwako obulwadde era nga oyagala okuzijjanjabira ewaka nga okozesa eddagala oba enkola ey'obutonde? Mu katambi kano, ngenda kulaga enzijjanjazba ey'obutond ey'enkoko

Endwadde bye bimu ku bizibu mu bulunzi bw’enkoko naye zisobola okujjanjabwa mu ngeri ey’obutonde.

Singa ekinnyonyi kyo kiwebwa obutwa, sekula amanda ogateeke mu mazzi ag’okunywa. Amanda gayamba okunywamu obutwa bwonna. Okujjanjaba enkoko ezirina obubonero bwa  senyiga, kozesa eddagala eriyitibwa colifox ne interflox, era okakase nti mu nnyumba yaazo mulimu ebbugumu erimala atera oteekeko ekifo ekiyingiza n’okufulumya empewo zireme kuziyira. 
Bwe zibeera n’omusaayi mu  kalimbwe oba nga mumyufu. Ebiseera ebisinga bubeera bulwadde bw’okuddukana obwa coccidiosis era busobola okujjanjabwa nga okozesa eddagala eririmu ekirungo kya sulphur nga sulphur cox. Era osobola okusekula ekigajji oba kamulaali naye sibyonna n’obiteeka mu mazzi g’okunywa. Okuziyiza kino  kukolebwa nga okakasa nti wezisula wakalu bulungi.
 Endwadde endala n’enzijjanjaba yaazo
obuzimba okuliraana amaaso. Buno buleetebwa akawuka akayitibwa fowl pox, akatambuzibwa ensiri era busobola okujjanjabwa ng’okozesa eddagala lya nemovit oba sulphur cox. Ziyiza ensiri okukendeeza ensaasaanya y’obulwadde.
Enjoka mu kalimbwe waazo zisobola okwewala mu ngeri y’obutonde nga oteeka kamulaali mu mazzi g’okunywa. Tta enjoka mu bukoko ng’okyusakyusa mu bbanga lya wiiki 8.
Okuziyiza okusuula amagi mu nkoko ezibiika nga okakasa nti enkoko oziriisa bulungi kubanga okuliisa obubi kiviraako enkoko okukogga ate singa enkoko zikendera n’eziweza kilo 1.5 tezisobola kubiika magi. Enkoko zo ziwe ebigeza amagi.
Ekiddukano ekya kiragala, singa enkoko ndwadde awo eba terya bulungi. Ejjanjabibwa nga owa ebinnyonyi ekigajji okitadde mu mazzi oba okwongeza ku ndya y’enkoko nga oziwa entangawuzi.
Obulwadde bwe kkabiriro obuva ku bbugumu eriyitiridde  mu mubiri gw’enkoko: kino kyeyolekera mu kuweekera n’okuzibuwalirwa okusa . Kino kisobola okujjanjabwa nga owa enkoko amazzi aganyogoga oba okuziwa eddagala erirumu ekirungo kya electrolyte, era weewala omujjuzo ogusukiridde.
Ebibumba ebigazi: buleetebwa singa amazzi gakunganira mu lubuto nga kiva ku butateekewo bulungi mpewo weyingirira n’ewefulumira mpozzi n’ebbugumu eritamala naddala mu kkulizo. Kino kisoboka singa  oleeta enkoko ez’ekigero  zeziretebwa. 
 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:30Okujjanjaba enkoko eziridde obutwa.
00:3101:17Obubonero n'enzijjanjaba ya ssenyiga mu binnyonyi
01:1802:34Ebireeta, obubonero n'enzijjanjaba y'obulwadde bw'ekiddukano ekya coccidiosis
02:3503:56obuzimba okuliraana amaaso kabonero ka kawuka akiyitibwa fowl pox
03:5704:42Teeka kamulaali mu mazzi g'okunywa kiyamba okujjanjaba enjoka ez'omu byenda mu nkoko.
04:4305:54Ebireeta n'enzijjanjaba y'okusula amaggi mu nkoko ezibiika.
05:5508:09Ekiddukano ekya kiragala mu nkoko kiva ku nkoko butalya bulungi.
08:1009:28obubonero n'enzijjanjaba y'ekkabiriro eriva ku bbugumu eriyitiridde mu mubiri gw'enkoko.
09:2910:10Obubonero n'enzijjanjaba y'obulwadde obuva ku mazzi okwetuuma mu lubuto mu lubuto.
10:1110:20Mu bufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *