Enkwata y’ebyenyanja enungi ekakasa nti omutindo mulungi eri abali era nekireeta ne sente eziwera.
Ebyenyanja byononeka mangu kulwa enzymes ne bacteria ebyetabu. Ekyenyanja ekyomutindo kiba n’amaso nga gatangaala, nga gali kungulu, ebiviri bimyufu nga enyama engonda bwoba ogikuteko. Okubikwasa barafu obulungi, kozesa kilo 1 eya barafu mu buli kilo ya byenyanja.
Ebikolebwa mu kutunda
Subulanga bya mutindo okwewala okufirwa era obiteke mu baraffu bireme kononeka. Bwomala byoze mu mazzi amayonjo okugyako obukyafu n’obuwuka, bitememu nga okozesa ebikola ebiyonjo mu kifo ekiyonjo okugyamu emimiro egibyanguya okwononeka era wewale obifuula obutwa. Okwongerako, Bikumire mu bisero ebitayitamu bbugumu nga biyonjo bino nga biriko akatuli awayita amazzi ga baraffu agasanuuse.
Engeri endala ebyenyanja bizinge mu lugoye oluyonjo nga lubisis okukuuma ebyenyanja okuva eri omusana. Kakasa nti ebyenyanja ebikalirire bya kitaka ssi bidugavu eranga tewali biwuka bibirimu era nga bwobinyigako bikaluba. Kakasa nti obuyamba bwa langi emasamasa (silver) nga tebulimu musenyu wadde ttaka bwobeera obwanika. Okugatako, ebeynyanja bikwat nobwegendereza era obikumire awayonjo.
Buli lwoba wakava mu kutwala ebyenyanja mu katale, funa ekifo ekyekusifu wotundira ebyenyanja bireme kukyafuwala, okuume emikebe, awabeera ebyenyanja n’ebikola nga biyonjo nga okozesa amazzi amayonjo era weyonje nabakozi.
Entambuza n’okutunda
Bwoba otambuza ebyenyanja kozesa firigi, emotoka ezitayisamu bbugumu nga enzigi zigalwa okwewala okukyafuwaza era ebyenyanja obikumire ku bunyogovu. Okugatako, ebyenyanja ebikalu bitambulize mu motoka embike era nga birina okupakirwa obulungi okwewala okukyafula. Okwongerako, bwoba otunda abaguzi babulire byotunda, bayise bulungi, era okuume wotundira nfa wayonjo era enyenyanja obirenge mu ngeri esikiriza okusika abaguzi. Ekisembayo, yawula ebyenyanja eebikalu, bikalirire, kwebyo ebibisi.